Ebyobulamu

Bunkenke ku ddwaliro

Ali Mivule

February 21st, 2013

No comments

doctors at workEmbeera mu ddwaliro ekkulu e masaka ya bwerinde oluvanyuma lw’abagambibwa okuba abalwanirizi b’eddembe ly’obulamu okugezaako okwekalakaasa.

Ekibinja ekikulembeddwamu Mohammed Ssegirinya kirumbye eddwlairo n’ebikozesebwa byebabadde baleetedde abalwadde.

Wabula bano babatutte tebalinnya nga babavunaana kuleeta mivuyo mu ddwaliro.

Mu kadde kano omuntu yenna atalina bbaluwa ya ddwaliro takkirizibwa kuyingira era ng’obyokwerinda kasiggu.

Omu ku baddukanya eddwaliro lino Eriaza Mugisha agambye nti basazeewo okuggala geeti okulemesa bakyala kimpadde abagaala okulemesa emirimu gyaabwe n’okutatagaanya abalwadde.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *