Ebyobulamu

Bannakyewa babanjizza yinsuwa yebyobulamu

Ivan Ssenabulya

November 26th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Ebiina byobwankyewa bisabye gavumenti ne palamenti okwanguyaako okuyisa, ebbago erikwata ku yinsuwa yebyobulamu, gyebatuuma National Health Insurance Bill.

Ebbago lino wetwogerera nga liri mu kakiiko ka palamenti akebyobulamu, ababaka bagenda mu maaso okulyekenneya, wabula banakyewa bagamba nti liruddewo nnyo.

Bwabadde ayogera ne banamwulire mu Kampala, akulira ekitongole kya Save for Health Uganda Makaire Fredrick era asabye nti abantu baabulijjo, baagwana balowozeebweko nnyo mu ntekateeka eno, kubanga bebatalina nsimbi ezobujanjabi.

Agambye nti mu nytekateeka eno yonna gavumenti era yanadibadde eteeka nnyo ku mwanjo abakozi aba lejja lejja.