Ebyobulamu

Abe Mukono bayombera ddwaliro

Abe Mukono bayombera ddwaliro

Ivan Ssenabulya

January 16th, 2020

No comments

Bya Prosy Kisakye

Olukiiko olufuzi olwa municipali ye Mukono lulangiridde olutalo kasigu ku bannakigwanyizi abagala okutatatana omutindo gw’empereza ye ddwaliro lya Mukono Health Centre 4.

Eddwaliro lino gyebuvudeko lyasumusibwa neidda ku mutendera gwa Hospital, wabulanga waliwo endoliito ddala ku ani etekeddwa okuliddukanya.

Enkayana ziri wakati wa munisipaali naba district, ba Kansala balumiriza disitulikiti okwagala okudibaga emirmu gye ddwaliro nobuwereza obulungi bwebabadde batuusa eri abalwadde.

Kino kidiridde ekiwandiiko ekyavudde ewomuwandisi owenkalakkalira mu ministry yebyobulamu Dr. Diana Atwine, eyabalagidde okuwaayo obuvunayizbwa bwokuddukanya eddwaliro lino eri aba district.