Ebyobulamu

Abavubuka tebakyafaayo ku mukenenya

Ali Mivule

September 9th, 2013

No comments

AIDS among youths

Minisitule ekola ku by’obulamu akakasizza nti abavubuka okumala geegadanga  kyekivuddeko mukenenya okweyongera.

Minisita akola ku by’obujjanjabi obusookerwaako, Sarah Opendi agamba nti abavubuka bangi balowooza nti waliwo eddagala eriweweza ku mukenenya olwo nebalowooza nti baba bawona.

Opendi wabula agamba nti bakusigala nga bakola obubaka obugenda eri abavubuka okulaba nti kino kikendeera

Okusinziira ku minisitule y’ebyobulamu, abantu 7 ku kikumi beebalina obulwadde bwa mukenenya mu ggwanga