Ebyobulamu

Abaana abazaalibwa n’ebituli mu mbuto beeyongedde

Ali Mivule

July 19th, 2013

No comments

baby with a hoe i

Omuwendo gw’abaana abazaalibwa nga balina ebituli mu mbuto zaabwe gwekubisizzamu emirundi ebiri okuva 1995.

 

Wabula abakugu mu by’obulamu bakayatakula mitwe okuzuula kiki ekivaako obulwadde buno.

 

Wano abasawo webalabulidde abakyala b’embuto okwewala okumira buli ddaggala lyebasanze kubanga kiteberezebwa okuba nti lyerivaako obulwadde buno.

 

Mu ggwanga ly’Amerika ku bukadde  bw’abaana  13.2 abaazalibwa wakati wa 1995 ne  2005, 4,713 baalina ebituli mu mbuto zaabwe.