Ebyemizannyo

Owa Vipers alinnye amadaala

Ali Mivule

April 21st, 2014

No comments

Omuzanyi wa Cranes ne Vipers fc Yunus Sentamu, wakuwandiisibwa mu kibiina ekikulembera omuzanyo gwomupiira mu Africa ekya CAF week eno okusobola okuzanyira team ye empya eya AS Vita Club eya Democratic Republic of Congo.
Omuwandiisi wa club gyabadde azanyira wano mugwanga Haruna Kyobe bwabadde yakakomawo enkya ya leero okumaliriza emisoso gyonna,ategezezza nga Sentamu bweyatadde ekinkumu kundagaano yamyaka ena (4years) era asuubirwa okuzannya mukikopo kya club empanguzi kuluzanya lwa teams omunaana ezekibinja.
Zo ssente ezitundidwa omuzannyi ono teziyatudwa wabula Haruna Kyobe ategezezza nga bweziri enungi eri omuzanyi wamu ne club ya Vipers fc.