Ebyemizannyo

Omupiira gw’amatikkira

Ali Mivule

July 31st, 2013

No comments

Kabak and soccer

Nga Buganda yetegekera emikolo gy’amatikira kulwomukaaga lwa sabiiti eno,ebimu kubikujjuko byolunaku kuliko omupiira gwebika bya Baganda wakati wa’Balangira nekika kyo’Musu mukisaawe e’Nakivubo.

 

Omwogezi wempaka zebika,Lwanga Kamere ategezezza nga omupiira guno bwegugenda okuzanyibwa oluvanyuma lw’emikolo emitongole  egyamatikira egigenda okubeera mu Lubiri e Mengo  kulunaku olwo.

Yo team ya Balagira ezanyemu omupiira ogwomukwano ne club ya Uganda Revenue Authority fc enkya ya leero e Gayaza era ekubidwa goal 4-0 okweteeka teeka obulungi.

 

Ate oguzanyibwa mu kiseera kino e’Nakivubo ,guli wakati we Nsenene ne kika kya Namungoona.