Ebyemizannyo

Omulamuzi ebya FUFA abijjeemu enta

Ali Mivule

February 16th, 2015

No comments

FUFA

Omulamuzi wa kkooti enkulu Lydia Mugambe avudde mu musango ogwawaabwa aba Uganda superleague  nga bawakanya ekya FUFA okusazaamu kontulakita yaabwe

Omulamuzi agambye nti alina kyekubiira mu nsonga zino nga tasobola kugusala

Mu ngeri yeemu era omulamuzi Mugambe ayongezezzaayo ekiragiro kyeyayisa ekiyimiriza FUFA okusazaamu kontulakita ya superleague okutuuka nga 3 omwezi ogujja.