Ebyemizannyo

Okukubaganya ebirowoozo ku mupiira

Ali Mivule

November 26th, 2014

No comments

FUFA Pc

Ekibiina ekiddukanya omupiira mu ggwanga kitegese omusomo gwa nnaku bbiri okukubaganye ebirowoozo ku mupiira gwa Uganda

Omusomo guno gwegusookedde dda mu byafaayo bya Uganda era nga ekigendererwa kunyululula mupiira gwa ggwanga.

Bino byonna byogeddwa akulira ekibiina kino Moses Magogo bw’abadde ayogerako eri eggwanga omulundi ogusookedde ddala bukyanga Uganda ewandulwa okuva mu mpaka z’ekikopo ky’amawanga ga Africa

Abadde ali wamu n’omutendesi Micho, abayambi be, abassa ensimbi mu mupiira gwa Uganda n’abalala