Ebyemizannyo

Ogw’ebika e Kkobe n’embogo gwa Lwamukaaga

Ogw’ebika e Kkobe n’embogo gwa Lwamukaaga

Ivan Ssenabulya

August 29th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Minisitule yebyemizannyo mu bwakabaka bwa Buganda nga bali wamu nebiina ekidukanya omuzannyo gw’omupiira mu Uganda bafulumizza entekateka ezigenda okugobererwa mu mupiira gwebika, ogwakamalirizo.

Ab’embogo bagenda kwambalagana nabe Kkobe omupiira ogugenda okubeera mu ssaza lye Buddu.

Minisita webyemizannyo mu bwakabaka bwa Buganda Owek. Henry Ssekabembe Kiberu ategezezza ngemilyango bwejijja okuggulwawo ku saawa 3 ezenkya kisobozese abantu bomutanda okuyingira ngobudde bukyali.

Ekika kyembogo kyakawangula ekikopo kino emirundi 2 ate kkobbe bakakiwangula emirundi 2.

Omupiira guno gugenda kubaawo ku Lowmukaaga luno nga 31 omwezi guno mu sazza lye Buddu.