Ebyemizannyo

Ogwa Uganda ne Togo gwakubeera ku Supersport

Ali Mivule

October 8th, 2014

No comments

cranes in actions

Team yegwanga eya Cranes ezzeemu okutendekebwa enkya ya leero e’Namboole nga yetegekera omupiira gwa Togo kulwomukaaga lwa week eno mukisaawe e’Namboole mumpaka ezokusunsulamu abanetaba mukikopo kya Africa omwaka ogujja mugwanga lya Morocco.

Team ya Togo efulumiza olukalala lwabazanyi 24 abagenda okujja e’Kampala okusamba omupiira guno nga kuno kuliko Emmanuel Adebayor aguzanyira mu team ya Tottenham mu’Bungereza.

Okusinziira kumuwandiise wekibiina ekikulembera omupiira mugwanga lya Togo Yvette Klussey,ategezezza nga team ya Togolese bwegenda okujira kunyonyi empangise era esasulidwa Government yaabwe kulwokutaano kumakya okuva mukibuga ekikulu Lome.

Omupiira guno gwakulagibwa butereevu kulutimbe lwa Tv ya Supersport 9 East.