Ebyemizannyo

Namboole atandise okuwuuma

Ali Mivule

November 15th, 2014

No comments

cranes u

Bannayuganda batandise okweyiwa mu kisaawe e Namboole okuberawo ng’abajulizi nga tiimu y’eggwanga eyambalagana ne tiimu ya Ghana.

Okusinzira ku mawulire agava mu nkabi abazanyi bona bali mu mbeera nungi era ngabalinze saawa bu saawa okuzanya Ghana ku saawa 10 ezakawungeezi.

Uganda bwewangula omupiira gwalero eba etangaziza emikisa gyayo egyokwetaba mu kikopo kya Africa cup of Nations ezinabeera mu ggwnga lya Equatorial Guinea omwaka ogujja.

Byo ebyokwerinda binywezeddwa okwetoola ekisaawe kye Namboole n’ebitundu ebiriranyewo omuli Kireka ne Bweyogerere okwewala ebikolwa ebyefujjo.

Omudumizi w’ebikwekweto bya poliisi mu Ggwanga Andrew Felix Kaweesi agambye poliisi emazze okuyiwa basajja bayo mu bifo byona okukwata abo abagala okutabangula emirembe.

Kaweesi agambye nti poliisi era yakukwata abagoba be bidduka nadala ku luguudo lya Northern By- pass abanetantala oluvugisa ekimama.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *