Ebyemizannyo

Minister yeeganye obukuubagano mu bitongole ebikuuma dembe.

Ivan Ssenabulya

February 20th, 2018

No comments

Bya Ssamuel ssebuliba.

Government ewakanyizza ebibadde bigambibwa nti waliwo okusika omuguwa wakati w’ebiwayi ebikola ku by’okwerinda  nadala bwekituuka kumutendera ogw’okukola ebikwekweto , kko n’okunonyereza kubuzzi bw’emisango.

Gyebuvudeko amawullire gaze gakiraga nga bwewaliwo obutakaanya wakati wa ISO, Police ne CMI, era nga buli omu abaddde ayingirira emirimo gyamunne.

Bwabadde ayogerako ne banamawulire , Frank Tumwebaze nga  ono ye minister akola ku by’amawulire agambye nti ebitongole ebikuuma dembe byonna birina akakiiko aka  National Security Council  mwebyegatira era mwebimalira ensonga zaabyo, kale nga obutakaanya tebuyinza kusuka wano.

Kati ono agambye nti eby’obutakaanya bigambo byabanamawulire simazima