Ebyemizannyo

Liigi y’okubaka eyongezeddwaayo

Ali Mivule

September 25th, 2013

No comments

 

Netball

Liigi  y’eggwanga ey’omuzanyo gw’okubakal nate eyongezeddwaayo okutuuka omwezi ogujja.

Oluzanya olw’okubiri olwa League eno lubadde lwakuddamu akawungeezi ka leero mu kisaawe e Namboole wabula club zigaanye okuzanyira e Namboole nga zitegeeza nga bwezitalina busobozi bwa nsimbi kupakira bazannyi kubatwaala Namboole.

Kati ko akakiiko akateesi teesi kagyongedeyo okutuusa nga 19th Omwezi ogujja nga lwekasuubira ebisaawe bebibakirwaamu ebizimbibwa e Nakivubo okuba nga biwedde.