Ebyemizannyo

Ke kaseera Wilder ne Fury okulaga ani yáni?

Ke kaseera Wilder ne Fury okulaga ani yáni?

ABDUL-NASSER SSEMUGABI

February 21st, 2020

No comments

<em>Fury (ku kkono) nga yeeriga ne Wilder mu nsiitaano eyasooka mu 2018.</em>

Fury (ku kkono) nga yeeriga ne Wilder mu nsiitaano eyasooka mu 2018.

Lennox Lewis, eyaliko kyampiyoni wénsi mu heavyweight, yómu ku bataamatira nti Mungereza munne Tyson Fury n’Omumerika Deontay Wilder beenkanya evvumbe mu December 2018.

Mu nguumi eyanyumira mu Staples Center, Los Angeles, omulamuzi Alejandro Rochin yawa Wilder 115-111; Robert Tapper owa Canada n’awa Fury 114-112, ate ye Omungereza Phil Edwards n’agaba maliri 113-113.

Lennox yagamba abalamuzi baabaddemu kyekubiira kubanga buli omu yalaba nti Fury yasinga ku Wilder okwolesa omutindo omulungi, wadde Wilder yamusuulamu ekigwo.

Gwe mulundi ogwali gusooka Fury okulwanira omusipi okuva lwe yava ku kkoligo mu 2015 ate nga Wilder yali alwana kusigaza musipi gwe omulundi ogwé 10 okuva lwe yaguwangula mu 2015.

Ku Ssande baakuddingana mu lulwana olusuubirwa okunyuma ennyo, tumanye ani musajja ku bombi, anti kizibu okuddamu okulemagana.

WILDER MU MYAKA EBIRI

Okuva lwe baalemagana Wilder ayongedde námegga abantu babiri— Dominic Breazeale ne Luis Ortiz ngábakuba KO.

Ye musajja akyásinze enguumi enzito era mu nnwana 43 Fury yekka ne Bermane Stiverne gwe yaggyako omusipi guno, be bokka abaakamalako naye nga tebawanise. Wadde Fury yawona olwasooka, Wilder akyasobola okumunnyula mu lulwana lwa Ssande.

Wilder tawangulangako musipi mulala ku minene egirwanirwa mu ‘heavyweight.’ Bwámegga Fury aba atwala ne The Ring, ogutalinaako kyampiyoni ssaawa eno.

FURY MU MYAKA EBIRI

Ne Fury mu lugendo lwókudda engulu tatudde. Engeri gye yazannyamu Wilder, buli omu gwátya, yamwongera amaanyi nókwekkiririzaamu.

Era okuva olwo awangudde ennwana bbiri. Yasooka nánnyula Tom Schwarz gwe yakuba KO názzaako Otto Wallin, gwe yasinga ku bubonero.

Mu laawundi esembayo Wilder yakuba Fury enguumi némusuula ku ttaka, era katono ddiifiri amunnyule naye mu lulwana lwonna yali alaze nti ategeera ekikonde okusinga ku Wilder. Akimanyi nti bwe yeewala nguumi ze enzito ayinza okumusinga amagezi námumegga.

Mu 2015 Wilder we yawangulira ogwa WBC, ne Fury mwe yakubira Wladimir Klitschko náwangula emisipi gya WBA Super World Heavy Title, IBF World Heavy Title, WBO World Heavy Title ne IBO World Heavy Title. Bwe baamusangamu ebiragalalagala bamwambula emisipi gino námala emyaka kumupi esatu nga tazannya.

Naye bukya adda mu June 2018 ennwana nnya aziwangudde, Wilder yekka ye yamulema. Okuddingana naye mukisa munene okuddamu okuwangula ku misipi eminene.

Asuubirwa okubeera ffiiti okusinga bwe yali alabiseeko. Ate nókubeerako ne Wilder mu laawundi 12 takyamutya era alina ne ppulaani okwewoma enguumi ze enzito. Bwákikola aba asobola okwambala engule.

Jjukira abazannyi bombi tebakubwangako naye ku luno omu ku bombi ayolekedde okusuula oluzannya lwe olusooka.

MU BUFUNZE
Ekifo: MGM Grand Garden Arena, Paradise, Nevada, USA Ddi? Ssande, February 23
Omukutu: BT Sport
DEONTAY WILDER
Yazaalibwa: October 22, 1985
Emyaka: 35
Gyázaalwa: Hometown, Tuscaloosa, Alabama, U.S.A
Eppaatiike: The Bronze Bomber Obuwanvu: ffuuti 6 insi 7 Obuzito: kkiro 96
Ennyimirira: Orthodox
Likodi: Awangudde 42–Akubiddwa 0– Amaliri 1 (KO 41)
Emisipi: alina WBC world Heavyweight Title

TYSON FURY
Yazaalibwa: August 12, 1988,
Emyaka: 31 Eppaatiike: Gypsy King
Gyázaalwa: Manchester, Bungereza
Obuwanvu: ffuuti 6 insi 9
Obuzito: kkiro 115
Ennyimirira: Orthodox
Likodi: Awangudde 29–Akubiddwa 0– Amaliri 1 (KO 20)
Emisipi: yalina WBA (Super), IBF, WBO, IBO, The Ring, ne lineal heavyweight champion

ABANENE BOOGEDDE
Mike Tyson

“Bombi mbaagala ngábalwanyi. Bombi baava mu mbeera mbi okufuuka bakyampiyoni bénsi. Kinkakatako okubawa kitiibwa. Naye njagala Fury yába awangula. Buli kaseera mbeera naye kubanga erinnya lye baalikoppa ku nze. Era mmwagaliza mikisa.

Anthony Joshua
“Ndowooza Fury asobola okuwangula. Wilder okuwangula yeetaaga okukuba Fury KO naye olwasooka kyamulema.
Ye Fury okuwangula asobola okukuba Wilder ebikonde ebiwera kubanga ye ennwana ye teyeesigamye ku kintu kimu kyokka. Asobola okulwana ate bangi bamunyooma nti enguumi ye si nzito nnyo. Naye ekyo kyabulabe kubanga omuntu gwónyooma amala kukukosa nólyoka omutegeera obukambwe.

Klitschko
“Wilder bwátakuba KO, Fury agenda kuwangula ku bubonero. Wilder mmuwa ekitiibwa, yali mu nkambi yange ngátendekebwa, twamala laawundi eziwera mu migwa. Mulwanyi musuffu era KO zákubye ffena mu mulembe guno tetuziweza. Naye nsuubira era njagala Fury yába awangula. Ate ngásobola.”

assemugabi@ug.nationmedia.com