Ebyemizannyo

FUFA egobye abatendesi bonna

Ivan Ssenabulya

July 10th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwomupiira mu gwanga ekya Federation of Uganda Football Associations FUFA) kironze Abdallah Mubiru, ngomutendesi wa team ye gwanga the Uganda cranes owekiseera, nga betegekera empaka za Total CHAN eza 2020 ezigenda okutandika mu July.

Kino kidiridde FUFA okugoba abatendesi ba team ze gwanga zonna, nge nebifo birangiriddwa nga bikalu.

Kuno kuliko Uganda Cranes ne teama endala ento.

Kati presidenti wa FUFA Eng. Moses Magogo agambye nti Mubiru agenda kumyukibwa Livingstone Mbabazi ne Sadiq Wasswa ngabatendesi babakwasi ba goal.

Ate Geoffrey Massa alondeddwa ngomutendesi owa guno na guli.

Kati bino okubaawo nga Uganda yetegekera okuzannya Somalia nga 28th July mu kibuga Mogadishu, mu mpaka za CHAN.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *