Ebyemizannyo

Empaka za pool zitongozeddwa

Ali Mivule

April 24th, 2014

No comments

pool table

Empaka z’omuzannyo gwa pool table eza National Open zitongozeddwa olunaku lwa leero mu kampala.

Empaka z’omwaka guno zakwetabwaamu abazanyi omutwalo gumu n’ekitundu okuva mu bitundu byegwanga amakumi anna nga zakutandika enaku ‘zomwezi 9th omwezi ogujja okutuuka nga 30th omwezi gw’omunaana.

Company ya Nile breweries etaddemu ensimbi akawumbi kamu mu obukadde 100 omwaka guno era omuwanguzi wakwewangulira emotoka ekika kya Toyota Brevis,emeeza y’omuzanyo guno,ensimbi obukadde bubiri eza Uganda wamu n’olugenda mu ggwanga lya Scotland mu mpaka zensi yonna mu mwezi gwekumi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *