Ebyemizannyo

Cranes yesozze enkambi

Ali Mivule

August 29th, 2014

No comments

cranes in actions

Tiimu  y’egwanga eya the Cranes eyingidde munkambi nga esuzibwaayo ku Sky Hotel olunaku lwa leero.

Okusinziira kumwogezi wa team eno Fred Katende Malibu,ategezezza nga abazanyi abalala okuli Walusimbi Godfrey,Baba Kizito ne Ssentamu Yunus bwebegase ku team eno era Cranes esuubirwa okusitula ku Sunday eno okwolekera egwanga lya Niger gyegenda okukuba amakanda oluvanyuma gyegenda okuva okwolekera Ghana basambe omupiira nga 6th September mumpaka ezokusunsulamu abanetaba mukikopo kya Africa omwaka ogujja.

Omupiira gwa Ghana ne Uganda gwakulwamukaaga lwa week ejja kussaawa 12 ezolweggulo.

Cranes olunaava e Ghana,egenda kukyaaza Guinea kulwokusatu nga 10th omwezi ogujja mukisaawe e’Namboole.