Ebyemizannyo

Bafanabafana efulumizza olukalala

Ali Mivule

January 19th, 2015

No comments

Bafanafana

Omutendesi wa tiimu ya Bafana Bafana Ephraim Shakes Mashaba alangiridde basajja be 11 abagenda okusookawo mu kisaawe nga bubefuka ne Algeria

Omupiira guno gugenda kubeera mu kisaawe kya Stade de Mongomo era nga gutandika ku ssaawa nnya

Darren Keet ali mu goolo yadde nga mu z’omukwano ogwaali wakati wa Cameroun ne Mali

Ono yasemba okukwata lwebakwatagana ne Zambia mu gw’omukwano omwezi guno.

Anele agenda kubeera muzibizi ng’ono azze mu kifo kya Rivaldo awummudde olw’okufuna obuvune ku viivi.

Wakati wabaddewo enkyukakyuka emu nga Madla Masango asikiziddwa Manyisa

Guno mulundi gwa kuna nga Furman ye Kaputeni wa tiimu eno eya Bafanabafana