Ebyemizannyo

Aba She-Cranes banesogga enkambi

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

she cranes

Ekibiina ekikulembera omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga kyakulangirira abazanyi 30 abagenda okutendekebwa okwetaba mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna ku lwokutaano lwa week eno .

Abanaalondebwa  okugenda mu Australia bakutandika okutendeka nga 18 omwezi gino

Omuwandiisi w’ekibiina kino mu ggwanga Annet Kisomose ategezezza nga okutendekebwa bwekugenda okubeera e Namboole era bagenda kutalaga n’ebitundu by’egwanga ebyenjawulo okutandika n’omwezi gwa January.

Kino bakukikola okusonda ensimbi ezinayambako  okuteekateeka tiimu ya She Cranes.