Olwali

Namukadde ayagala okumukwana

Ali Mivule

February 10th, 2015

No comments

Namukadde w’emyaka 82 akwatiddwa lwakubba kalifuuwa ow’ebbeeyi mu dduuka ng’ayagala okusikiriza abasajja Omukyala ono enzaalwa ya America agamba nti ennaku zino abasajja babadde tebakyamukwana kwekusalawo efune yo akabayingula emeeme Omukyala ono yetondedde ab’edduuka ng’agamba nti naye abadde anoonya mukwano.

Omwana wa kilo mukaaga kitundu azaaliddwa mu America

Ali Mivule

February 9th, 2015

No comments

Mu ggwanga lya America ,waliwo omukyala azadde omwana nga kilo mukaaga n’ekitundu Omwana ono atandikiddewo okulya enyo ng’ama g’anywa geeganyweebwa omwana ow’emyezi esatu Omwana yeeyakasinga okuba omuzito okuzaalibw amu America Ekyewunyisa nti omwana ono yazaaliddwa bulungi nga nyina tatungiddwa yadde wuzi emu.

Ezzike lumukubye empi

Ali Mivule

February 9th, 2015

No comments

Omusajja abadde akuba ezzike ekifananyi kimupachizza empi nebimukalira ku matama Ono abadde mu ggwanga lya Rwanda ng’agenze kulambula Ezzike lino erigambibwa okuba nga linyweddemu lyongedde okutabuka okukkakkana nga limulemesezza okulikuba ekifananyi

Eyabba Pizza akomyeewo

Ali Mivule

February 5th, 2015

No comments

Omusajja eyabba pizza okuva mu kifo ekiribwaamu emyaka 13 emabega agikomezzaawo Omusajja ono agambye nti pizza eno weyagibbira nga mwavu muzibu ate ng’omwana we omu gweyalina muyala Omusajja ono kati eyagaggawala agamba nti bulijjo kimulumiriza nga y’ensonga lwaki akomezzaawo pizza eno.

Omu China yetemyeeko omukono

Ali Mivule

February 4th, 2015

No comments

Omuvubuka abadde akooye okubeera ku kompyuta ate nga yagimanyiira yetemyeeko omukono. Omuvubuka ono ow’emyaka 19 okuva mu China alese akabaluwa mu kisenge kye ng’agamba nti asazewo okwetemako emikono okusobola okwewala okukwata ku kompyuta Omuvubuka ono okumanya abadde akooye n’omukono gweyetemyeeko afubye ogukweka kyokka nga gumaze […]

Kkapa egabula omwenge

Ali Mivule

February 3rd, 2015

No comments

Waliwo omusajja enzaalwa ya Bungereza atendese embwa ya muganzi we okumuwereeza bbiya Omusajja ono amanyiddwa nga Ben yasooka kukolawo mukwano n’akabwa kano ng’ayita nako buli wamu Kati azze agiyigiriza mpola okuggulawo firiigi n’ejjayo bbiya n’emuwereeza era nga mwattu omulimu egukola bukwakku

Obumonde bubizadde

Ali Mivule

February 2nd, 2015

No comments

Mu ggwanga lya America, omusajja asudde obumonde mu kabuyonjo n’ezibikira, akubidde abaziinyamooto okumuyambako oluvanyuma lw’amazzi okubimba Omusajja asoose kuyita poliisi nga tejja kwekuyita abaziinyamooto. Abaziinyamooto bwebatuuse ku kizimbe bagobye buli omu abadde ku goloofa kw’asula kyokka yye

Omuzimu gukaabye

Ali Mivule

January 30th, 2015

No comments

Omusajja eyafa edda akimazeeko abantu bw’azze okwetaba ku lumbe lwe ng’abwakuba omulanga omuzibu Guo Liu, 45 nga nzaalwa ye China yafa emyezi esatu emabega bweyali agenze awutu ne mikwano gye Omusajja ono gw’oyinza okuyita omuzimu azze yefuuyira ka sigala era abantu nebabuna emiwabo  

Ekiyenje kibizadde

Ali Mivule

January 29th, 2015

No comments

Ebiyenje bitawaanya bangi nga n’ababeera mu Taiwan bibalumba Kati omukazi abadde ayagala okutta ekiyenje n’akikumako muliro amalirizza effumbiro alyokyezza Omuliro guno alese gwaaka n’ateekako kakokola tondeka nyuma.

Kkapa ezuukidde

Ali Mivule

January 28th, 2015

No comments

Mu Florida kkapa eyatomerwa emmotoka n’efa amazeeko abantu eby’ewungula bw’efubutuse mu ntaana nga nnamu nnyo Ebadde amaze ennaku ttaano mu ntaana. KKapa eno emanyiddwa nga Bart yasangibwa mu kitaba ky’omusaayi wiiki emu emabega era okugituusa mu ddwaliro abasawo nebategeeza nga bweyali efydde Okulabikako, kkapa eno […]