Olwali

Abakadde enjaga ebakubye

Ali Mivule

November 21st, 2014

No comments

Akatambi akalaga bannamukadde basatu nga banywa enjaga mu bubba katunda nga keeki eyokya Abantu abasoba mu bukadde 11 beebakalaba akatambi kano akakwatiddwa mu Washington ekya America. Abakadde bano abasatu nga bonna bakyala balabwaakko nga bagabana omusokoto gw’enjaga nga bwebazannya ne matatu Wabula oluvanyuma lw’eddakiika nga […]

Baasi za kazambi yiino

Ali Mivule

November 20th, 2014

No comments

Baasi esoose obutakozesa mafuta ng’ekozesa kazambi olwaleero etandise okutambuza abantu Baasi eno etuuza abantu 40 ekoleddwa ba yingiya okuva mu Bungereza Abagikoze kyebagaala kwekukendeeza ku mafuta agakozesebwa mu byentambula n’okukendeeza ku motoka ezifulumya erikka

Ono tatya biduduma

Ali Mivule

November 19th, 2014

No comments

Kubamu akafananyi ng’obadde onywa akatunda ko , abasajja abampadde obukokoolo nebayingirawo nga tobamanyi ate mu kiro. Manyi bangi bafukamira ate abalala banoonya awalala aw’okuddukira. Ssi bwegubadde ku musajja enzaalwa ye Russia asigadde ng’anywa akatunda ke yadde alumbiddwa ka bakanyama 35 Omusajja ono abadde mu kafo […]

Museveni akubidde cranes essimu-abagumiza okukuba Guinea

Ali Mivule

November 18th, 2014

No comments

Omukulembeze w’eggwanga  Yoweri Kaguta Museveni  akubidde enkambi ya Uganda Cranes essimu e Morocco era n’abazzamu amaanyi. pulezidenti  awadde  omutendesi wa Cranes Micho Sredejovic ku bukodyo bw’okuwangula omupiira gwebagenda okuzannya n’eggwanga lya Guinea olunaku olwenkya era n’abawa amagezi  obutazanyira ku puleesa okusobola okumegga Guinea. Yye kapiteeni wa Cranes […]

Babulidde mu misooli

Ali Mivule

November 17th, 2014

No comments

Ekibinja ky’ab’oluganda ababadde balambula omusiri gwa kasooli mu America bayise poliisi lubaluba oluvanyuma lw’okubulira mu musiri Bano babadde balambula omusiri oguweza yiika 63 nga batandise okwebulako mpola okukkakkana nga basobeddwa Poliisi ekirungi etuuse mu budde n’ebakwataganya wakati mu ssanyu  

Omumpi n’omuwanvu- Basisinkanye

Ali Mivule

November 14th, 2014

No comments

Omusajja asinga omuwanvu mu nsi yonna asisinkanye munne asinga obumpi mu nsi yonna omulundi ogusookedde ddala mu kibuga London Sultan Kosen, alina ft munaana ne yinki ssatu agambye nti balina engeri nyingi gyebayinza okukwataganamu n’omumpi eno owa fiiti emu ne yinki mwenda yadde nga tebenkana […]

Azuukidde akaaba mpewo

Ali Mivule

November 14th, 2014

No comments

Omukyala enzaalwa ye Poland eyalangirira nti afudde azuukidde akaaba mpewo. Janina ow’emyaka 91 amaze essaawa 11 mu ggwanika oluvanyuma lw’abasawo  okukakasa nti afudde Wabula ababadde mu ggwanika kibaweddeko okulaba omusajja ono ng’atandise okwekyuusa Ababadde ewaka nga bali ku bibakuli bya buugi ne kabalagala kibaweddeko okulaba […]

Akuuma kano akakwese mu mpale

Ali Mivule

November 13th, 2014

No comments

Bw’oba olowooza  nti abapakira ebintu bya supamaketi mu mpale bali mu Uganda wokka musaaga. Mu ggwanga lya Amerika, waliwo omusajja akwatiddwa ku kamera ng’akweeka akuuma ekasala embaawo mu mpale Ekyewunyisa nti abakozi abalabye omusajja ono ku kamera bafudde nseko nga balaba engeri gy’abadde atambula ng’ajagaana […]

Omusajja amazeemua kagoba

Ali Mivule

November 12th, 2014

No comments

Abayizi ku ssomero erimu mu Bungereza bakungaanye okwelorera ku musajja abadde yemala enyonta mu ngeri eyewunyisizza buli omu Omusajja ono abadde obute teri ategedde gy’avudde kyokka ng’olutuuse mu nimiro z’essomero lino n’agwa wansi n’atandika okwemalako enyonta Abayizi abangu bamukutte ku ssimu era kati ebifananyi bye […]

teri kwogera ludica

Ali Mivule

November 12th, 2014

No comments

Nanyini kafo akalirwaamu mu America afulumizza amateeka agawera abakozi be okukozesa ebigambi by’ekiyaaye Ono era aweze n’abakozesa olulimi lwebayita oluniga era ebigambo byonna n’abikuba ku lupappula lw’atimbye Mu ngeri yeemu ono aweze ebya bakozi abamala gakozesa ebigambo ebiboola abelian ekirwadde kya Ebola Kati manyi waliwo […]