Emizannyo
FUFA evuddemu omwasi- Kati tutunuulidde CECAFA
Omwogezi wa Fufa Rogers Mulindwa asabye banayuganda n’abawagizi b’omupiira obutaggwaamu essuubi olw’ebyo byonna ebyaliwo ku lw’omukaaga oluwedde ,oluvanyuma lwa Cranes okuwanduka mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna. Mulindwa ategezezza ng’omupiira gwa Uganda bwegukyaliwo era kati batunulidde empaka za Cecafa ezigenda okubeera mu kibuga Nairobi omwezi gwa […]
Kaka azzeeyo mu AC Milan
Omusambi w’omupiira enzaalwa ye Brazil Kaka ayabulidde tiimu ya Real Madrid n’addayo mu tiimu ya AC Milan Madri yagula kaka obukadde bwa pawunda 56 kyokka nga kigambibwa okuba ng’addiddeyo ku bwereere nga tiimu zigula n’okutunda abazannyi Kaka nga yeeyawangula ekikopo ky’omuzannyi ow’ensi yonna ey’omwaka 2007 […]
Serunkuuma ne Dhaira ssibakuzannya
Omuzannyi Daniel Sserunkuuma n’omukwasi wa goolo Abbey Dhaira ssibakwetaba mu gw’omukwano wakati wa Cranes ne Bostswana ku lunaku lw’omukaaga Omutendesi wa tiimu Micho agamba nti Serunkuuma tiimu gy’asambira mu Kenya yagaanye okumuta ate ng’alina okutya nti Dhaira ayinz aokuba nga tannawona oluvanyuma lw’okufuan obuvune Wabula […]
Pulezidenti azizzaamu tiimu y’eggwanga amaanyi
Okulya obulungi n’empisa byebisinga obukulu mu byemizannyo Buno bwebubaka okuva eri president museveni eri abazannyi mu tiimu y’eggwanga eya Uganda cranes Ono obubaka abubawadde abasiibula mu maka ge Entebbe Tiimu eno esitula ku lunaku lw’okuna owkoleekera Bostwana okuzannyamu ogw’omukwano aebadde esisisnkanyeemu omukulembeze w’eggwanga okubazzaamu […]
Kiprotich asiimiddwa
Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga basiimye emirimu egikolwa omuddusi afuuse ensonga mu ggwanga Stephen Kiprotich. Ono yeetabye mu lutuula ng’ababaka basiima omulimu amakula gw’akoze mu kutumbula eggwanga lya Uganda ku mutendera gw’ensi yonna Ekiteeso ky’okusiima Kiprotich kireeteddwa minister w’ebyemizannyo,, Jessica Alupo nekiwagira omubeezi we Kamanda […]
Uganda ssiyakukiikirirwa mu Volleyball
Tiimu y’eggwanga eya Volleyball evudde mu maka z’ekikopo kya Africa za Bakyala Empaka zino zibadde zakubaawo omwezi ogujja mu Kenya. Amyuka akulira ekibiina ekifuga omuzannyo gwa Volley Ball, Godwin Sngendo agamab nti tebalina ssente zinabatambuz an’okubabeezaawo nga bali mu Kenya
Kiprotich azzeemu okuwangula zaabu
Stephen Kiprotich azzeemu okuwangula zaabu mu mpaka z’omutolontoko( Marathon) Ono afuuse ow’ebyafaayo ssi nti kubanga muddusi mulungi kyokka wabula nti ne mu ggwanga akoze ekyafaayo. Ye muddusi ow’okubiri okuwangula omudaali gwa zaabu ogw’omuddiringanwa nga ku luno addukidde essaawa bbiri n’edaakiika mwenda n’obutikitiki 51. Omwaka oguwedde, […]
Uganda Cranes yakugumba e Butuluuki
Timu y’eggwanga eya Uganda cranes yakugumba mu ggwanga lya butuluuuki nga yetegekera okusamba omupiira gwaayo ne Senegal Omupiira guno gwegwokusunsulamu abagenda okwetaba mu z’ekikopo ky’ensi yonna Omutendesi wa Uganda, Mich agamba nti okussa abazannyi bano mu nkambi kyekyokka ekijja okuyamba abazannyi okwetegeka Omupiira guno […]
Omusu guyiseewo
Mu mipiira gy’ebika olwaleero, ekika ky’omusu kiwanduddemu abalangira okwesogga oluzannya olusooka oluddirira olwakamalirzo luyite quarter final Ab’Omusu okuyitawo bawangudde abalangira goolo 3 ku emu mu mupiira ogubadde mu kisaawe e Nakivubo Omupiira ogwasooka , abalangira bawangula goolo 1 ku bwereere wabul goolo z’omusu zisobodde okuguyisaawo […]
Leila Blick atunuulidde Muwonge
Omuvuzi w’emmotoka z’empaka Leila Blick agamba nti ekigendererwa kye kikyaali kyakuvuga kutuuka ku mutindo gwa Suzan Muwonge. Muwonge ye mukyala yekka eyakawangula empaka za bannantameggwa ba Africa mu mwaka gwa 2011. Lelial muwonge ne munnakenya Helen Shiri bagenda kukwatagana n’abasajja 24 mu mpaka za […]