Amawulire

Abe Nsambya basenguddwa

Ali Mivule

February 25th, 2013

No comments

Baneekolera gyange abasoba mu 300 beebasenguddwa e nsambya nga kigambibwa nti ekifo kino kyaguliddwa omugagga Hassana Basajja Balaba. Abagobeddwa beebatunda sayidi boodi, kabada n’ebilala ku luguudo lwe Gaba. Abamu ku babazzi naababumba aboogedwako naffe bagamba nti baludde nga bawa obusuulu mu kitongole ky’eggaali y’omukkawabula nga […]

Baasi za Pioneer tezikyatambula

Ali Mivule

February 14th, 2013

No comments

Bannakampala abakozesa baasi za pioneer bubakeredde. Baasi zino ziwambiddwa lwabutasasula misolo. Ab’ekitongole ekiwooza ekya URA bagamba nti kkampuni ya pioneer bagibanja obuwumbi 8 mu misolo. Baasi zino ezibadde zakaweza omwaka bukyanga zitandika zibadde ziyambyeeko ba mufuna mpola okutambulira ku beeyi ensaamusaamu

Amasomero gaggaddwa

Ali Mivule

February 11th, 2013

No comments

Amasomero agasoba mu 10 aga primary ne secondary geegaggaddwa mu district ye Mukono lwabutatuukagana na mutindo. Gano gaggaddwa mu kikwekweto ekikulembeddwaamu akulira eby’okulondoola amasomero, Olivia Bulya n’akulira ebyenjigiriza,Margret Nakitto. Amasomero agaggaddwa tegabadde na butanda bumala mu booda, agatawuula baana balenzi na bawala, agatalina mataala mu […]