Amawulire

Olukiiko lwa taxi lugenda mu maaso

Ali Mivule

March 20th, 2014

No comments

Oluvanyuma lwabavuzi ba taxi okumala akabanga nga bemulugunya ku basirikale ba poliisi n’ebizibu ebirala, Minister wa Kampala Frank Tumwbaze ayise olukiiko bateese ku nsonga ez’enjawulo bazinogere eddagala. Omubaka wa Makindye eyobuvanjuba gyebuvuddeko yakwanga minister ekiwandiiko ku kwemulugunya kwaba taxi bano nga bawakanya empooza eyitiridde eri […]

Abasuubuzi beekalakaasizza

Ali Mivule

March 20th, 2014

No comments

Abasuubuzi mu ttawuni kanso ye Wakiso bavudde mu mbeera nebekalakaasa lwabakulira ekitundu kino okuggala amaduuka gaabwe . Kanaluzaala gwe musolo gw’amayumba nga aba tawuni kanso balumiriza abasuubuzi bano okugwebalama. Abasinga ku basuubuzi bakedde ku makya nebasanga nga amaduuka gaabwe kuliko kufulu wabula nga mpaawo mukungu […]

Abe wa Kisekka

Ali Mivule

March 20th, 2014

No comments

Abamu ku basuubuzi bomu katale kewakisekka bawakanyizza ekirowoozo ky’okumenya akatale kaabwe omulundi gumu nga kagenda okukulakulanyizibwa. Nga bakulembeddwamu Hasad Bukenya bagamba nti singa abasuubuzi basangulwa omulundi gumu bandifuna ebizibu nga abasuubuzi b’omukatale ke wandegeya byebafuna nga era batya nti munamaggye Col John Mugyeyi yandikozesa akakisa […]

Ab’amafuta basanyukidde obukuumi bwa poliisi

Ali Mivule

March 19th, 2014

No comments

Kkampuni z’amafuta mu ggwanga zaanirizza ekya poliisi okubawa obukuumi. Olunaku lwajjo poliisi yategeezezza nga bw’egenda okwongera obukuumi eri abatambuza amafuta mu tanka oluvanyuma lw’abatujju okuddamu okuwera okulumba Uganda. Akulira kkampuni ya VIVO Energy Uganda Hans Paulsen agamba nti nabo batandikiddewo okwongera ku bukuumi okuziyiza ennumba […]

Aba Taxi bakaaba misolo

Ali Mivule

March 19th, 2014

No comments

Abagoba ba taxi mu paaka ya Namayiba basabye KCCA ebaayambe ku basajja baayo ababatulugunya Abagoba bano bagamba nti nnnayini paaka eno Bosco Muwonge abajjako enkumi bbiri buli lunaku okusimba mu paaka eno ate ngaa basasula n’omusolo gwa KCCA. Bano era bagamba nti kuno kw’ossa n’ekya […]

Abasuubuzi be wa kisekka bakaaba

Ali Mivule

March 18th, 2014

No comments

Abasuubuzi mu katale ke wa kisekka bali mu keetalo kakuzimba katale ak’omulembe Enteekateeka eno yakutandika mu gw’okutaano ssinga KCCA eba eyisizza pulaani y’ekizimbe kyebagaala Bano basazeewo konteyina zaabwe okuzissa ku paaka ya Namayiba Kino kirese abataaxi baali mu kutya nti bandigobwa mu paaka eno

KKampuni y’amasimu endala ezze

Ali Mivule

March 17th, 2014

No comments

Kampuni  gagadde esaasadde ssemazinga zonna eya Aga Khan Foundation for Economic Development nate eguddewo omukutu gw’ebyempuliziganya ogwa  Smart -Tele Communication Company. Kizuulidwa nga guno gwegumu kumukutu ogugenda okubeera nebisale ebyawansi, kale nga gwakubeera gwankizo eri bamufuna mpola abaagala okutambula n’omulembe Abdellatif Bouziani nga ono y’akulira […]

Aba taxi balwaanye

Ali Mivule

March 17th, 2014

No comments

Abavuzi ba taxi e Mukono beekalakaasizza nga nabe tenda Kiddiridde abaddukanya ekibuga tenda ya taxi okugiwa aba MUTODa abayise olukiiko olunaku lwaleero. Abataxi tebakkirizza na lukiiko kutandika tnebatandika okuwogganira waggulu kko n’okukwata ebipande ebirumba aba MUTODA Olukiiko olwayitiddwa lubadde lwakwanjulira ba dereeva bintu bya bwebinatambula […]

Drake Lubega yeddiza awasimba baasi za baganda

Ali Mivule

March 15th, 2014

No comments

Abasuubuzi abaddukanyiza egyaabwe mu paaka ya baasi eya Qualicel bus terminal basabiddwa okusigala nga bakkakkamu nga byonna bwebiterezebwa Kiddiridde omugagga Drake Lubega okuddamu okuddukanya paaka eno okuva ku Charles Muhangi Ssabawolereza wa gavumenti yeeyawandiikidde poliisi ng’agisaba ewe Lubega obukuumi okuddukanya paaka eno era nayo teyebase […]

Abasuubuzi bayimirizza akeediimo

Ali Mivule

March 14th, 2014

No comments

Abasuubuzi bannayuganda abagiddukanyiza mu ggwanga lya South Sudan basazizzaamu akeediimo kaabwe. Kiddiridde ensisinkno gyebabaddemu n’aduumira poliisi Gen Kale Kaihura Kaihura ategeezezza abasuubuzi bano nti gavumenti ebadde ekola ku nsong zaabwe lwakuba nti waliwo emisoso mingi. Asabye n’abasuubuzi okwewala ebikola by’effujjo bulijjo basooke nga kuteesa Abasuubuzi […]