Ebyobusuubuzi
Banabyanfuna boogedde ku banka yekisiraamu
Bya Ivan Ssenabulya Banabyanfuna bagumizza abakristaayo, ku kutya kwebalina ku kutereka ssente mu nkola yekisiraamu, oba Islamic banking, egenda okutandika okukozesebwa. Banadiini abataba enzikiriza ezekikristaayo, wansi wa Uganda Joint Christian Council bavaayo okuwakanya enkola eno, nebagamba nti tebajitegeera atenga erabika erubiridde kukwenyakwenya okukyusa bakiriza okubazza […]
Abalimi e Bukomansimbi bagala gavumenti ebadukirire n’ensigo
Bya Prossy Kisakye Abatuuze ku byalo 5 mu district y’eBukomansimbi bakubidde gavument omulanga ebadukirire ebawe ensigo oluvanyuma lw’okugya nga basiga efunda eziwera naye ebirime byabwe ne bikala olw’enkuba okulwawo okutonya. Ebyalo ebyasinga okukosebwa kuliko Lwemiriti, Mirembe, Bigasa Kasambya ne Makukuulu. Bano bategezeezza nga okuva mu […]
Gavumenti evudeyo ku balimi n’ababbi ba Vanilla
Bya Prossy Kisakye Minisitule y’eby’obulimi n’obulunzi etadewo ebiragiro ebikkakali wamu n’engasi eri abalimi ba vanilla kko n’abamubba mu nnimiro. Bino by’asanguzidwa mu lukugaana lw’abamawulire olutuzidwa minisita omubeezi ow’ebyobulimi Christopher kibazanga. Kibazanga agamba bakizudde nti buli ebisale bya vanilla lwe birinya n’abamubba nga beyongera kwossa n’abalimi […]
Munnayuganda aleese enkola y’okusindika ssente
Bya Ndaye Moses Omunna-Uganda ngasinziire mu gwanga lya America, aleese enkola emmpya eyokusindika ensimbi okusukka ensalo, okuyita ku masimu. Enkola eno yatuuse ku kale, nga kigenda kukola abantu okusindika ensimbi, wabula ku bwerere. Ham Sserujonjo yaleese ka application ku ssimu, keyatuumye Chipper cash, oluvanyuma lwokunonyereza […]
Gavumenti eri munteekateeka zakudabiriza olukuubo lw’eggaali y’omukka
Bya Prossy Kisakye Oluguudo olw’eggaali y’omuka oluyitibwa Standard Gauge Railway sirwakuyimirira nga bw’ebibadde by’ogerwa wabula lw’akusirisamu akaseera katono okwongera okw’ekaanya engeri y’okulugusa mu bwangu ddala okutumbula entambula y’eby’amaguzi n’abantu mu Uganda ne Kenya. Bino by’ogeddwa Minisita avunamyizibwa ku nguuddo n’eby’entambula Monica Azuba Ntege, bw’abadde alambula […]
Omwalo gwe Kiboto bagugadde
Bya Prosy Kisakye Abakulira eby’obuvubi mu disitulikiti ye Kalangala bagadde omwalo gwe Kitobo mu ssaza lye Ssese, nga kati abavubi bali mu maziga. Abavubi bagamba nti mu kiseera kino tebakyalina kyebakola okujako okutuula obutuuzi, nga wano basabye gavumenti ebadiremu. Akulira eby’obuvubi mu disitulikiti ye Kalangala […]
Ba musiga nsimbi balina essuubi
Bya Ndaye Moses Ba musiga nsimbi mu Uganda balina essuubi nti omuwendo gwabantu ogw’eyongera mu gwanga, kigenda kibayamba okwongera ku katale akebyemaguzi byabwe. Akulira kampuni yamasimu eya Techno, mu gwanga Shiva zhong agambye nti ssinga, Uganda esigala mu mirembe, ebyenfuna byayo bigenda kwongera okuyitimuka Ebibalo […]
Abasubuzi b’amatooke e Mbarara balajana
Bya Prossy Kisakye Abasubuzi bamatoke abagagya mu bitundu bye Mbarara basobeddwa eka ne mukibira oluvanyuma olw’ebbeeyi yaago okulinya. Bano bagamba nti ekisinze okulinyisa ebeeyi yamatooke ye nkuba eyakuba ensuku zaabwe gye buvuddeko nga kati gaakendera mu bitundu bye Mbarara ne Isingiro Abasubuzi bategezeza nti ebbeeyi y’emmere ebadde […]
Abalimi b’ebikajjo basanyufu
Bya Abubaker Kirunda Abalimi bebikajjo mu district ye Mayuge batenderezza omukulembeze we gwanga, Yoweri K. Museveni ku kyeyakoze okuyimiriza okuteesa ku bbago lya ssukaali, lyebatuuma Sugar bill, okutuua nga buli akwatibwako yebuziddwako ekimala. Ebbago lino lyali lyayisbwa palamenti, wabula ababaka nga bagaanye ekya zoning oba […]
Sudir awangudde ogwabanamateeka
Bya Ruth Anderah Kooti yeby’obusubuzi egaanye banamateeka aba Sebalu, Lule and Company Advocates, obutaworereza DFCU bank, mu musango gwa nagagga Sudhir Ruparelia. Mu nnamula ye omumyuka womuwandiisi wa kooti Festo Nsenga agambye nti banamateeka bano mu mwaka gwa 2016 baweebwa omulimu, okwekenneya endagaano zobupangisa bwabanatu […]