Ebyobusuubuzi

KCCA esengudde obuyumba

Ali Mivule

July 8th, 2014

No comments

Bannanyini buyumba  omutundibwa ebintu ku kkubo wali e Lugala ku kidda ku luguudo lwa Northern Bypass bakeeredde mu miranga oluvanyuma lw’ekitongole kya KCCA okumenya obuyumba bwaabwe. Aba KCCA bamenye obuyumba bwonna obuli okumpi n’ekubo lino okusinga obwobubaawo n’ebibaati nga era obukunukkiriza mu 20 busigadde ku […]

Ebbeeyi y’amafuta erinnye

Ali Mivule

July 3rd, 2014

No comments

Nga wakayita olunaku lumu lwokka ng’abamasimu bategeezezza nga bwebagenda okwongeza ebisale bya mobayilo mane, bbo ab’amafuta tebalinze era bagongezza Emu ku kkampuni ggaggadde eya amafuta eya VIVO energy oba giyite shell eyongezza shs 50 ku mafuta nga kati ga shs 3750 ku masundiro gaayo Akulira […]

Abe Nakasero babanyaze

Ali Mivule

July 2nd, 2014

No comments

Abasuubuzi mu katale ke Nakasero bagaala gavumenti ekome okuwa lisinsi ebibiina by’obwegassi abantu byebamanyi nga Sacco. Kiddiridde ekibiina ekimanyiddwa nga Asalam SACCO okudduka n’obukadde bwaabwe ataano bwebabadde bakaterekawo. Abasuubuzi bano bagamba nti buli omu yasasula emitwala etaano okuggulawo akawunti era nga babadde kati bawezezze wakati […]

KCCA etabukidde aba taxi ku paakingi

Ali Mivule

June 25th, 2014

No comments

Abagoba ba taxi mu kibuga bakangudde eddoboozi ku ky’okuboyebwa kwa taxi ezisimba ku makubo Aba KCCA olwaleero bakoze ekikwekweto mwebakwatidde taxi zonna ezisimba awakyaamu ng’enguudo ezikoseddwa kwekuli Ntinda ne Jinja Road. Aba taxi beetwogeddeko nabo bagamba nti basobeddwa ewaka ne mu kibira kubanga bu webadda […]

Aba USAFI beekalakaasa lwa Ttooyi

Ali Mivule

June 24th, 2014

No comments

Abakolera mu katale ka USAFI bavudde mu mbeera nebekalakaasa ng’obuzibu buva ku Kabuyonjo Abantu bano bagamba nti kabuyonjo balina emu ate nga terina mazzi. Bano era bawakanya n’eky’okubasasuza shs 200 ez’okuyingira mu Kabuyonjo nga bagamba nti zandibadde zisalwaako.  

Abakolera e Sudan bagaala bukuumi

Ali Mivule

June 23rd, 2014

No comments

Bannayuganda abakkakalabiza egyaabwe mu ggwanga lya South Sudan bagaala amaggye ga Uganda gongerwe mu kitundu kino. Bano bagamba nti kino kyakulongoosa eby’entambula basobole okukola nga tebatya Bino biggyidde mu kaseera ng’amaggye ga Uganda gakalabula ku bakwatammundu abongedde okuteega ku nguudo okunyagulula abantu Ssentebe wa bagoba […]

Aba paakayaadi bakkirizza okwewandiisa

Ali Mivule

June 23rd, 2014

No comments

Abasuubuzi mu katale ka Paakayaadi kyaddaaki bakkirizza okwewandiisi. Abakulu bano baali bagaana nga bagamba nti tebamanyi lwaki beewandiisa Wabula bano yadde embeera tekyuuse kuluno bakkirizza okwewandiisa RCC wa kampala Aisha Kabanda y’akulembeddemu omulimu gw’okubasendasenda beewandiise nga y’aleese n’abawandiisa Omuwandiisi w’akatale kano, john Bosco Serwadda Kabanda […]

Okugula ku batembeeyi- bulungi bwansi kye kibonerezo

Ali Mivule

June 18th, 2014

No comments

Abantu musanvu abakwatiddwa nga bagula ku batembeyi kkooti ebalagidde bakole bulungi bwa nsi. Ku bano kuliko omuyizi Salim Musoke eyasangiddwa ng’agula sitokisi. Omulamuzi w’eddaala erisooka ku City Hall Erias Kakooza bano abalagidde okukola essaawa emu n’ekitundu eya bulungi bwa nsi nga basindikiddwa KCCA gy’ewa kasasiro […]

15 bayooleddwa mu kikwekweto kya KCCA

Ali Mivule

June 16th, 2014

No comments

Abantu 15 beebayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa KCCA ku bagula ku batembeeyi Mu bano kwekuli n’abatembeeyi benyini Ekikwekweto kino kibadde ku luguudo lwa Luwum mu kibuga era ng’emirimu gisanyaladde nga bino bigenda mu maaso. Omwogezi wa KCCA peter Kawuju agamba nti abantu bano beebasibye abasuubuzi ku […]

Abakozesa amasimu bakooye okubbibwa

Ali Mivule

June 13th, 2014

No comments

Abakozesa amasimu baddukidde mu kooti enkulu olw’amakampuni agatabaweereza bulungi.  Bakulembeddwaamu Abel Balemesa nga bagamba nti kkampuni z’amasimu ziyitirizza obubbi nga zisala n’ensimbi ku bubaka obutasindikiddwa  Bano bagamba nti mu ngeri yeemu n’amasimu agakutuka gajjibwaako ensimbi ekintu ekikyaamu  Bano bawaabiddeko n’akakiiko akakola ku by’empuliziganya nga kko […]