Amawulire
Abebyokwerinda baboye ente 20 e Kalungu
Bya Gertrude Mutyaba Ab’ebyokwerinda mu disitulikiti ye Kalungu baliko ente zebakutte ezisoba mu 20, nga kigambibwa nti babadde baziggye mu gwanga lya Tanzania, songa eno balangirirayo kalantini. Akuliddemu ekikwekweto kino Barnabus Rugyenda okuva mu ministule yebisolo agambye, nti ente ezikwatiddwa ziriko obulambe bwe Tanzania. Rugyenda […]
Gavumenti eyagala kuwooza abajjayo ssente mu bbanka
Bya Juliet Nalwooga Minisitule yebyensimbi eriko ekiteeso kyeyetisse, okutandika okuwooza buli ssente enkalu omuntu zajjayo mu bbanka. Mu bbaluwa eyawandikiddwa omumyuka womuwandiisi we gwanika lye gwanga Patrick Ocailap nga 9 February 2021, basabye gavana wa banka ye gwanga enkulu Tumusiime Emmanuel Mutebile abawe okuwabula kwe […]
Ab’e Mukono balwanira ttaka lya lufula
Bya Ivan Ssenabulya Poliisi Mukono yayitiddwa okukakanya embeera ng’entabwe, oluvanyuma lwenkayana ze ttaka ku ttaka lya lufula mu kibuga. Eno abasaveya, ababadde bazze okupunta poloti okutudde lufula ekyajje abasubuzi mu mbeera. Poloti eno esangibwa mabaga wskatale ak’omu Kikko e Mukono, nga ya Kayitiro Binaisa. Kati […]
Abe Rakai bemulugunya olw’okulwawo okubaliyirira
Bya Malikh Fahad Abatuuze mu disitulikiti ye Rakai mu bitundu omugenda okuyita omudumu gwamafuta, bavuddeyo okwemulugunya olwokulwawo okubaliyirira. Bano baabadde mu lukiiko olukwata ku buttoned bwensi negeri enkulakulana eno gyegenda okuosaamu ekitundu olwatudde ku kisaawe kye Lwanda, nebatuuse okwemulugunya kwabwe. Polojekiti eno eya East Africa […]
Abasubuzi bekalakaasa lwa Namirembe loodi
Bya Ivan Ssenabulya Abasubuzi mu Kampala bavudde mu mbeera nebekalakaasa, nga bawakanya entekateeka ya KCCA, okutondawo enguudo zabebigere, okutatambulire mmotoka. Bano okuli nabe mmotoka ezitikkula ebyamaguzi bagamba nti entekateeka eno, egenda kubalemesa okukola batuuke nokuva mu kibuga. Kati bayise ba minisita okuli owa Kampala nowebyentambula […]
Abámata bemulugunya eri gavumenti
Bya Prosy Kisakye Abasubuzi bamata wansi wekibiina ekibagatta ekya Livestock Development Forum, bavumiridde gavumenti, olwokuleka abasiga nsimbi okusaalawo ebbeyi yamata mu gwanga. Ssentebbe wekibiina kino Ben Twine agambye nti embeera eno, ebaviriddeko okukoleranga mu kufiirwa. Ono agambye nti kampuni 11 zezilongoosa amata mu gwanga, wabulanga […]
Abalimi baweereddwa amagezi
Bya Prossy Kisakye, Amyuka omukwanaganya w’entekateeka ya gavumenti eya bonna bagaggawale eya operation wealth creation Lt Gen Charles Angina awadde abatekateeka okuyingira ekisaawe kye by’obulimi amagezi okweyambisa amapeesa asatu okuli eryo kwewaayo, okulemerako ne nneyisa okusobola okunoga enusu mu mulimo guno. Angina agamba nti omuntu […]
UNBS erabudde ku bizigo byebawera
Bya Shamim Nateebwa Ekitongole ekirondoola omutindo gwebyamaguzi ekya Uganda National Bureau of Standards kyongedde okunyweza ekoligo, lyebateeka ku bika byebizigi 50 ebiirmu ekirungo kya mercury ne hydroquinone. Omwogezi wa UNBS Barbara Kamusiime agambye nti ebizgo bino, byabulabe kubanga byerusa atenga byinza nokuvaako ebirwadde byolususu. Ono […]
Kalantiini erangiriddwa e Lyantonde néMayuge
Bya Malikh Fahad ne Abubaker Kirunda Abatwala ebyebisolo mu district ye Lyantonde bagadde obutale bwente, oluvanyuma lwokubalukawo kwekirwadde kya kalusu mu district ye Sembabule. Kati akulira ebyebisolo mu district ye Lyantonde Dr. Ronald Bameka yalangiridde, nga bwebagadde obutale bwonna. Óbutale obukoseddwa kuliko ake Lyakajura, Kashagama […]
Palamenti eyagala kumanya ku Enaje dulinki
Bya Ritah Kemigisa Omubaka we Kasambya mu palamenti Gaffa Mbwatekamwa asabye gavumenti nti wabeewo ekikolebwa ekyamantu, ku byokunywa ebyakazibwako erya energy drink, obumeruka wano na wali mu gwanga. Obwokunywa buno agamu ku makampuni gabutunda gagamba nti buzaamu amaanyi, okugogola emisuwa nemigaso mingi eri omubiri. Wabula […]