Ebyobulamu
Bunkenke ku ddwaliro
Embeera mu ddwaliro ekkulu e masaka ya bwerinde oluvanyuma lw’abagambibwa okuba abalwanirizi b’eddembe ly’obulamu okugezaako okwekalakaasa. Ekibinja ekikulembeddwamu Mohammed Ssegirinya kirumbye eddwlairo n’ebikozesebwa byebabadde baleetedde abalwadde. Wabula bano babatutte tebalinnya nga babavunaana kuleeta mivuyo mu ddwaliro. Mu kadde kano omuntu yenna atalina bbaluwa ya ddwaliro takkirizibwa […]
Kasasiro ayitiridde
Abakulira distrct ye Jinja baweze abatuuze okukozesa ebipipa bya kasasiro mu district eno. Kati ebimotoka bya kasasiro byaakuvanga nju ku nju nga bikungaanya kasasiro ono. Omwogezi wa town council eno Rajab Kito agamba nti basazeewo kino kubanga abantu abasinga basuula kasasiro mu bipipa bino […]
Sukaali ku mabwa
Mu ggwanga lya Zimbabwe, waliwo omusawo atandise ounonyereza okuzuula oba sukaali awonya ebiwundu. Moses Murandu agamba nti yakula alaba kitaawe ng’assa sukaali ku mabwa. Ono agamba nti sukaali bw’omussa ku kiwundu akisikamu amazzi era ng’agoba obuwuka obwandiyingidde mu kiwundu.
Ebbula ly’amazzi
Amazzi gafuuse otuzzi e jjinja. Ekidomola ky’amazzi mu kadde kano kya lukumi era ng’ebirabo by’emmere ebisinga bimaze okuggalwaawo. Ebbula lino livudde ku masanyalaze okuvaako ku kyuuma ekikulu ekikulu. Wabula aba water bagamba nti bakola kyonna ekisoboka okutaasa embeera
Lunaku lwa Kondomu
Lunaku lwa bupiira bukali mpitawo mu nsi yonna. Yadde abamu babukozesa, abalala beekwasa ebintu bingi omuli n’eky’okuba nti bubasiiwa Ate abalala bagamba mbu tebanyumira kigwo nga babwambadde era nga kino kyekisinga okweralikiriz abali mu byobulamu. Akulira ekibiina ekigatta abasawo mu ggwanga Dr Magaret Mungherera wano […]
Babatutte entyagi
Abasalamala ababadde basala emiti ku ttaka alya Kabaka batutte nabugi ssi mufungize. Bano emiti babadde bagisala ku ddwaliro lya Madala Health center e Mityana. Eddwaliro lino lyazimbibwa ssekabaka Muteesa nga lyakukola ku ba bigenge wabula nga gavumenti yalyezza nelifuuka elya bulijjo. Ababadde basala emiti bafubye […]
Ebikwekweto ku batembeeyi
Aba Kampala capital city authority ng’eri wamu ne poliisi emenye obuyumba obwazimbibwa okumpi ne Arua Park. Obuyumba obumenyeddwa mubaddemu aba Mobile money, abatunda emmere nga n’abe bigaali tebabatalizza. Ekikwekweto ekibadde kikulembeddwaamu, aduumira poliisi mu Kampala n’emiriraano, James Ruhweza n’abakwasisa amateeka mu KCCA. Mu kiwekweto kino […]
Ebbugumu likendeeza emikisa gy’okuzibikira emisuwa egili mu binywa
Abakugu bakizudde nti omuntu bw’abeera mu kifo ekilimu ebbugumu kikendeeza emikisa gye egy’okuzibikira emisuwa egili mu binywa. Okunonyereza kuno kwakoleddwa ku bakyala emitwaalo 20 mu ggwanga lya America. Abakugu bakizudde nti kino kiyinza okuba nga kiva ku kirungo kya vitamin D ekisangibwa mu musana. Wabula […]
Uganda y’akulwanyisa omuze gw’okukecula abakyala mu mbugo
Uganda ebaze ku lutalo lw’okulwanyisa omuze gw’okukecula abakyala mu mbugo. Bino bizze ng’eggwanga lyeteekateeka okukuza olunaku oluvumirira ekikolwa kino olugenda okukwatibwa olunaku lw’enkya. Minister omubeezi akola ku byobuwangwa, Rukia Nakadama agamba nti abakyala abali mu bukadde 120 beebakeculwa buli mwaka ku lukalu lwa ssemazinga wa […]