Ebyobulamu

Teri kusasula tooyi

Ali Mivule

September 6th, 2013

No comments

Abaana abali wakati w’omwaka 1- 15 bawereddwa omukisa okukozesa kabuyonjo ku bwerere mu bitundu bye Katanga. Kino kikoleddwa okukendeza ku kumansa kazambi mu kitundu kino. Ssentebe w’ekyaalo, Hassan Wasswa agamba nti abaana bano babadde basanga obuzibu okufuna webeyambira olw’ensonga nti eziriyo za ssente.

Enkambi y’ebyobulamu

Ali Mivule

September 5th, 2013

No comments

Enkambi abantu mwebanayita okumanya ebikwata ku bulamu bwaabwe yakubaawo ku lw’omukaaga luno. Enkambi eno amanyiddwa nga Full Woman health camp ku luno essira yakulissa ku bya ndya bya baana n’abakyala abali embuto. Omukungu mu Monitor publications, Jackie Tahakanizibwa agamba nti enkambi eno egenda okubeerawo omulundi […]

Abakyala abaavu bafa mangu

Ali Mivule

September 4th, 2013

No comments

Abakyala ababeera mu mawanga agaakula edda balina emikisa gy’okuwangaala okusinga banaabwe mu mawanga amaavu Ab’ekibiina ky’ensi yonna ekikola ku byobulamu bagamba nti abakyala batono mu mawanga agakyakula abasukka emyaka ataano. Kino kiva ku ndwadde ezibaluma ezitaggwa omuli n’ezo ezitalina kuba za bulabe Ekibiina kino kigamba […]

Obuteebaka ofunamu ndwadde za Mutima

Ali Mivule

September 4th, 2013

No comments

Obuteebaka kimala kya bulabe nnyo eri obulamu bw’omuntu. Okusinziira ku basawo, omuntu alina okwebaka okumala essaawa munaana okubeera obulungi kyokka nga bangi tebaziweza. Bannasayansi bagamba nti obuteebaka buvaako endwadde z’omutima omuli ogwewuuba, nga gusobola n’okwesiba omulundi gumu omuntu n’afa ekibwatuukira. Abantu abaweza ebitundu 90 ku […]

Akafuba kaava mu AFrica

Ali Mivule

September 2nd, 2013

No comments

Obulwadde bw’akafuba kizuuliddwa nti bwava mu Africa emyaka bufukunya amabega Kino kisanguddewo bulijjo ebyogerwa nti obulwadde buno bwava ku nsolo emyaka omutwalo mulamba emabega Okunonyereza kuno kulaza nti abavaako obulwadde buno baali bayizzi emyaka emitwaalo 70 emabega Wabula tebalaze wa wenyini mu Africa wava obulwadde […]

Gvaumenti terina ssente za bazaalisa

Ali Mivule

September 2nd, 2013

No comments

Gavumenti ekakasizza nti tebajja kusobola kufuna misaala gya bazaalisa ku malwaliro ga health center 3 ne 4. Minister akola ku by’ensimbi, Matia Kasaija agamba nti batunuuliddwa byakutereeza byabuzimbi omuli enguudo sso ssi byabulamu Kasaija agamba nti wabula abasawo bano tebasaanye kuggwaamu maanyi . Wabula ekitongole […]

Tewannabaayo mulala agufuna musujja guva ku nkwa

Ali Mivule

September 2nd, 2013

No comments

Tewanabaawo Muntu mulala efuna musujja oguva ku nkwa ogumanyiddwa nga Congo Crimean hemorrhagic fever mu district ye Agago Akulira eby’obulamu mu district eno, Dr Emmanuel Otto agamba nti abantu abasatu abaweebwa ebitanda nabo baasibuddwa ku lunaku lw’omukaaga Abantu bano bagyibwaako omusaayi neguvaayo nga gulaga nti […]

Abakyala tebamanyi bikwata ku famile

Ali Mivule

September 2nd, 2013

No comments

Ministry y’ebyobulamu egamba nti omuze gw’abakyala okujjamu embuto guvudde ku bantu okutaputa obubi obubaka ku  nkola za kizaala ggumba. Abakyala abatannaba kwetuuka abawerera ddala emitwaalo 30 beebajjamu embuto buli mwaka. Minister omubeezi akola ku by’obujjanjabi ebisookerwaako, Sarah Opendi agamba nti abakyala bangi tebatamanyi bikwata ku […]

Abalwadde bakaaba-Sikaani nfu

Ali Mivule

August 30th, 2013

No comments

Abalwadde mu ddwaliro e kkulu e Mulago bakaaba lwa kyuuma kya Scan ekyaafa Ekyuuma kino okukikozesa e Mulago abantu basasula emitwalo 12 kyokka nga mu malwaliro amalala bawa emitwalo 25 Omu ku bakoseddwa ye Ronald Nsamba asangiddwa ku kitanda nga kuno nno amazeeko ennaku ttaano […]

Okutambula kukyuusa omubiri

Ali Mivule

August 30th, 2013

No comments

Bannasiyansi bazudde lwaki omuntu alwaawo okumanyiira ekifo ky’atabeeramu buli lunaku Abanonyereza okuva mu university ya Oxford bagamba nti kino kiva ku mbeera omuntu gy’ayitamu ng’atambula naddala bw’aba atambulidde mu nyonyi. Bano abagamba nti byebazudde byakubayamba ookukola eddagala omuntu ly’ayinza okumira ng’ali mu nyonyi oba ng’agivuddeko […]