Ebyemizannyo
Hajji NKambwe ow’emotoka z’empaka afudde
Abantu abenjawulo bakyakungubagira abadde omwogezi wekibiina ekikulembera omuzannyo gwemotoka zempaka Haji Nkambwe afudde enkya ya leero. Ab’ekibiina ekiddukanya omupiira mu ggwanga nabo bawaddeyo obubaka bwabwe obukubagiza Omugenzi okubiddwa ekirwadde kya puleesa enkya ya leero ku ssaawa bbiri ez’okumakya . Amyuka omukulembeze wekibiina ky’omuzannyo gw’emotoka z’empaka […]
She Cranes ewanduse mu z’ensi yonna
Tiimu ya Uganda ey’okubaka the she Cranes ewanduse mu mpaka z’ensi yonna ez’okubaka eziyindira mu ggwanga lya Australia. Uganda ekubiddwa Jamaica ku goolo 59-47 nga ne Malawi yabakuba mu luzanya olwasooka mu zisooka eziddirira ezakamalirizo. Rachael Nanyonga asuuse goolo 29 sso nga kaputeeni Peace Proscovia […]
She Cranes etuuse- bagiwangudde mu mukwano
Tiimu y’eggwanga ey’omuzanyo gw’okubaka eya She Cranes yatuuse bulungi mu ggwanga lya Australia akawungeezi k’eggulo,gyeyagenze okwetegekera empaka z’ekikopo kyensi yonna eza Netball World cup mu kibuga Sydney. She Cranes kati nga esuzibwa ku Hotel ya Ibis esobodde okuzanyayo omupiira ogw’omukwano n’eggwanga lya New Zealand enkya […]
Empaka z’ebika zitongozebwa leero
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olunaku olwalero wakutongoza empaka z’emipiira gy’ebika bya Buganda. empaka zino zakuggulwamu mu butongole Ssabasaja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda 11 nga 26 omwezi guno mu kisaawe e Wankulukuku nga Enkobe littunka ne Ngabi. Mayiga agambye nti ebika yentabiro y’okwegatta […]
Emivuyo mu FIFA gyandikosa FUFA
Emivuyo mu kibiina ekiddukanya omupiira mu nsi yonna ekya FIFA gyandikosa enzirukanya y’emirimu mu kibiina kyakuno ekya FUFA. Akulira FUFA Moses Magogo agamba embeera eno yandibakosa mu byensimbi naye nga nabo betegekerawo ensimbi ezisobola okubatwaza kumpi emyaka 4 nga tebafunye buyambi kuva eri FIFA.
Gavumenti ya kukuuma ensimbi z’abalwadde
Ssabaminista w’eggwanga Dr. Rukahana Rugunda agamba nti bavuddeyo n’enkola empya ey’okukuumamu ensimbi okuva mu Global Fund obutabbibwa Ng’ayogerera ku mukolo gw’okussa emikono ku ndagaano egaba ensimbi zino eziweza obuwumbi 1300, Dr. Ruhakana Rugunda agambye nti tebagenda kukkiriza Muntu yenna kwesembereza nsimbi zino nga […]
Micho yeweredde Tanzania- tukyabongera
Akakiiko k’ebyekikugu kakutuula olunaku lw’enkya okwetegekera omupiira gw’okuddingana wakati wa Uganda Cranes ey’abazanyira ewaka ne Tanzania. Uganda yakubye Tanzania goolo 3 ku bwereere mu mupiira ogwazannyiddwa ku lw’omukaaga ekiro Omutendesi wa tiimu MIcho agamba nti tewali budde bwakutuula nga bakutandikirawo okwetegeka Bano bakuzannya ogw’okuddingana nga […]
FIFA eyimirizza entegeka
Okulonda eggwanga elinakyaaza empaka z’ekikopo ky’ensi yonna mu mwaka 2026 kwongezeddwaayo Ssabawandiisi wa FIFA Jerome Valcke agambye nti kibadde kijja kuba kya bwewussa okugenda mu maaso n’okulonda eggwanga erinakyaaza empaka zino wakati mu mbeera egenda mu maaso Akalulu akanasalawo ggwanga ki erinategeka kakukwatibwa mu Kuala […]
Uganda etubidde mu mupiira
Uganda esigadde mu kifo kya 71 ku mawanga 209 abasinga okucanga omupiira Bino bifulumiziddwa aba FIFA Uganda erina obubonero 504 ng’erongosezza okusinziira ku bubonero 485 zeeyalina omwezi oguwedde Mu East Africa, Uganda y’esinga okucanga akapiira Ethiopia eti mu kifo kya 99, South Sudan ya 108, […]
Olunaku lwa baddusi lwa nkya
Uganda yakwegatta ku nsi endala 117 okukuza olunaku lw’emisinde munsi yonna. Olunaku luno lwakukwatibwa olunaku lw’enkya nga mu Uganda wategekeddwaawo emisinde e Namboole okugezesa abaddusi ba Uganda. Omwogezi w’ekibiina ekikulembera omuzannyo guno mu ggwanga Namayo Mawerere ategezezza nti emisinde gyenkya,mwebagenda okulondera team y’eggwanga enakiika mu […]