Ebyemizannyo
Uganda etubidde mu mupiira
Uganda esigadde mu kifo kya 71 ku mawanga 209 abasinga okucanga omupiira Bino bifulumiziddwa aba FIFA Uganda erina obubonero 504 ng’erongosezza okusinziira ku bubonero 485 zeeyalina omwezi oguwedde Mu East Africa, Uganda y’esinga okucanga akapiira Ethiopia eti mu kifo kya 99, South Sudan ya 108, […]
Olunaku lwa baddusi lwa nkya
Uganda yakwegatta ku nsi endala 117 okukuza olunaku lw’emisinde munsi yonna. Olunaku luno lwakukwatibwa olunaku lw’enkya nga mu Uganda wategekeddwaawo emisinde e Namboole okugezesa abaddusi ba Uganda. Omwogezi w’ekibiina ekikulembera omuzannyo guno mu ggwanga Namayo Mawerere ategezezza nti emisinde gyenkya,mwebagenda okulondera team y’eggwanga enakiika mu […]
Abesunze olwa Mayweather ne Pacquiao boogera bingi
Oluzannya wakati w’omumerika Mayweather ne Manny Pacquiao lweluli ku mimwa gy’abantu mu nsi yonna nga balwesunze nga kyakulya. Bano nno bepimye olwaleero nga Mayweather azitowa pawunda 146 ate Pacuio omu philipino ng’alina pawunda 145. Abantu omutwalo gumu mu lukumi mu bitaano beebaddewo ng’abantu bano beepima. […]
Giggs ayinza okunsikira- Van Gaal
Omutendesi wa tiimu ya Manchester United Louis van Gaal agambye nti eyali omuzanyi wa tiimu eno Ryan Giggs yayinza okufuuka omusika we. Giggs, 41 yeeyali mu mitambo gy’emipiira ena mu sizoni ewedde oluvanyuma lwa David Moyes okugobwa mu mwaka oguwedde Van Gaal w’emyaka 63 yassa […]
Ebye Nakivubo bituuse mu palamenti
Abakubi b’ebikonde n’abantu abalala abegattira mu kibiina kya Kampala Boxing Club bateekateeka kukwanga palamenti kiwandiiko okulaba nga enonyereza ku bigambibwa nti ekisaawe ky’e Nakivubo webasimbye amakanda kyaweereddwawo eri bamusiga nsimbi. Wiiki eno omukulembeze w’eggwanga y’alagira minisitule y’ebyenjigiriza okukyuusa amanya g’obwananyini bw’ekisaawe kino okudda mu […]
FIFA tejja kwetonda
Ekibiina ky’omupiira mu nsi yonna ekya FIFA kigamba nti ssikyakusasula Muntu yenna oba kiraabu etali nsanyufu olw’empaka z’ekikopo ky’ensi yonna okussibwa mu mwezi gwa November ne December 2022 Aba FIFA era bagamba nti ssibakwetondera Muntu yenna akoseddwa enkyukakyuka zonna mu mpaka zeezimu FIFA yasazeewo omupiira […]
Emisinde gy’omutolontoko gizze
Empaka z’omutolontoko ezituumiddwa Ibanda Marathon zitongozeddwa omugagga Patrick Bitatule Emisinde gino gyakubeera Ibanda nga 28 omwezi guno era nga gyakwetabwaamu kkampuni ezitali zimu Ensimbi ezinaava mu misinde gino zakugenda eri okulwanyisa abamenyi b’amateeka
Omulamuzi ebya FUFA abijjeemu enta
Omulamuzi wa kkooti enkulu Lydia Mugambe avudde mu musango ogwawaabwa aba Uganda superleague nga bawakanya ekya FUFA okusazaamu kontulakita yaabwe Omulamuzi agambye nti alina kyekubiira mu nsonga zino nga tasobola kugusala Mu ngeri yeemu era omulamuzi Mugambe ayongezezzaayo ekiragiro kyeyayisa ekiyimiriza FUFA okusazaamu kontulakita ya […]
Equatorial Guinea yakuliwa
Eggwanga lya Equatorial Guinea likubiddwa kayini ya mitwalo 10 egya doola olw’okulemererwa okufuga abantu baalyo mu mupiira gweryazannye ne Ghana olunaku lwajjo Ab’ekibiina kya CAF bagamba nti omupiira guno nebweguba gwakuddibwaamu, abawagizi tebajja kukkirizibwa kubaawo. Equatorial Guinea era eragiddwa okusasula obujjanjabi bw’abawagizi 36 abalumiziddwa mu […]
Ab’obugaali gabesibye
Abakulembera omuzannyo gwobugaali mugwanga amagezi gakyabesibye olwensimbi zebanoonya okutwala team yegwanga mumpaka za Africa Continental Championships ezigenda okubeera mu Kwazul Natal ,e South Africa bwezikyabuze. Empaka zino zakutandika nga 9th okutuuka nga 14th omwezi guno. Amyuuka omuwandiisi wekibiina ekikulembera omuzannyo guno Easter Cynthia Muwonge ategezezza […]