Ebyemizannyo
Tiimu ya vipers yakwambalagana ne bright stars leero.
Bya Samuel Ssebuliba. Nga tiimu ya Vipers Sports Club yeetegekera okwetaba mu mpaka za Azam Uganda Premier League leero, tutegeezedwa nga team bwefunyeemu edibu nga kino kidiridde okukimanyaako nti omu kubazanyi baayo. Moses Waiswa tagenda kubeera ku tiimu egenda okw’ebiriga ne Bright Stars mumupiira […]
Olila High School bawangudde ekyabakyala
Bya Ali Mivule Aba Olila High School bebanantameggwa b’ekikopo kya Uganda Cup ekyabakyala. Olila yakubye Gafford Ladies 3-1 ku penati oluvanyuma lw’okugwa amaliri 1-1 mu ddakiika 90. Olila yavudde maliri okuwangula omupiira guno mu muzanyo ogwanyumidde abalabi ku kisaawe kya Madibira Primary school playground in […]
Mujib Kasule ali ku ssaala
Bya Ali Mivule Akakaiiko ka FUFA akakola ku by’okulonda kakutuula olunaku lwaleero okusalawo ku nsonga z’ayagala okwesimbawo ku kifo ky’akulira FUFA Mujib Kasule ataasunsulibwa ku lwokutaano oluwedde. Ssentebe w’akakiiko kano Samuel Bakiika agamba Mujiba alina ebibulako bingi nga emikono gy’abaamusemba, obufaananyi n’ebirala ebibulamu. Ye Mujiba […]
FUFA ekungubagidde owa IvoryCoast
Bya Ali Mivule Ekibiina ekiddukanya omupiira mu ggwanga ekya FUFA kyegasse ku bantu abenjawulo okukugubagira abadde omuzanyi w’eggwanga lya Ivory Coast Ismael Cheick Tiote . Tiote y’atondose n’afa bweyabadde mu kutendekebwa ne ttiimu ye eya Beijing Enterprises FC mu ggwanga lya China. Kati akulira FUFA […]
Cranes yakuttunka ne Senegal olwaleero
Bya Ali Mivule Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira batuuse dda mu ggwanga lya Senegal okuttunka ne bananyinimu aba Senegal olunaku lwaleero. Guno gujja kuba muoiira gwakubiri nga begezaamu mu kwetegekera ogwokusunsulamu abanetaba mu za Africa eza 2019 n’eggwanga lya Cape Verde. Ogwasoose baagudde maliri 0-0 ne Ethiopia […]
Kawempe Muslim S.S bebakyampiyoni
Bya Ali Mivule Aba Kawempe Muslim SS beddiza ekikopo kya liigi y’abakyala omulundi ogwokusatu ogwomudiringanwa oluvanyuma lw’okukuba aba UCU Lady Cardinals 4-0 ku kisaawe kye Wankulukuku. Juliet Nalukenge y’ateebye goolo 2 olwo Sharon Naddunga ne Favour Nambatya nebateeba endala. Aba Uganda Martyrs’ High School […]
Kawempe Muslim ne UCU bali ku fayinolo ya liigi
Bya Ali Mivule Ttiimu ya Kawempe Muslim SS yesozze fayinolo zempaka za liigi y’eggwanga ezokusatu ezomuddiringanwa. Kawempe yetakuluzzako aba Olila High Scool 2-0 . Akulembeddemu abateebi Hasfa Nassuna yateebye goolo 2 okuwa Kawempe obuwanguzi . Kati Kawempe yakuzanya aba UCU lady cardinals abaakubye Uganda Martyrs Lubaga […]
Aba Mauritania bakulamula ogwa cranes
Bya Ali Mivule Ekibiina ekifuga omupiira ku ssemazinga wa Africa kilonze badiifiri okuva mu ggwanga lya Mauritania okulamula omupiira wakati wa Uganda Cranes ne Cape verde. Lemghaifry Bouchaab y’agenda okugubeera mu mitambo nga era wakuyambibwako Aderahmane Warr ne Hamedine Diba nga abawuubi b’obutambaala. Ye Match […]
Cranes eraze eryanyi
Bya Ali Mivule Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira eya Uganda Cranes yayongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo bwebaakubye ttiimu ya Kitara 3-1. Omupiira guno gwanyumidde abalabi ku kisaawe kya Buhinga wali mu tawuni ya Fortportal. Emmanuel Okwio yateebye ggoolo 2 olwo Nelson Senkatuka n’ateeba eyokusatu […]
KCCA FC ne Vipers bakuggwa eggayangano
Bya Ali Mivule Olwaleero kabbinkano kenyini mu liigi y’eggwanga nga abakulembedde aba KCCA FC baabika ne Vipers. Omupiira guno ogusuubirwa okubeerako n’obugombe gwakubeera ku kisaawe kya KCCA ekya Phillip Omondi e Lugogo Oluvanyuma lw’okugwa amaliri ne Sc Villa 1-1 e Masaka, omutendesi wa ttiimu ya […]