Amawulire
Abayizi bagenze mu kkooti
Abayizi mu ttendekero e makerere olutalo lwa fiizi balututte mu kooti. Kiddiridde abakulira ettendekero okwogera lunye nga bwebatagenda kukyuusa mu nkola eragir abuli muyizi okusasula fiizi ebitundu nkaaga ku kikumi mu saabiiti omukaaga omukaaga ezisooka. omwogezi w’abayizi, Moses Kyeyune agamba nti kikyaamu ab’ettendekero okuyisa ebikwata ku […]
obuyumba bumenyeddwa
Abakulembeze ba Mityana town council bakoze ekikwekweto nebamenya obuyumba bwa kiosk bwonna obuli mu tawuni, ekirese abasuubuzi nga balaajana. Ekikwekweto abaserikale ba town council bakizoe mu matumbi budde ekiro nga abasuubuzi bagenze okutuuka ku mirimu nga obuyumba bwabwe ne maali byonna byalugenze dda. Obuyumba […]
Akafubo ku baasi
Aba kkampuni ya pioneer easy bus beesozze akafubo n’abawooza aba Revenue authority. Kino kigendereddwaamu kulaba nti baasi zino zidda ku nguudo okusabaaza abantu. Omu ku bakulira kkampuni ya pioneer ,John Masanda agamba nti basuubira URA okubaddiramu baasi zino ziddemu okukola. Kati saabiiti nnamba nga baasi […]
Yesse lwa bbanja
Omukazi e Rakai yewadde obutwa naafa lwabanja. Rose Nantongo ow’emyaka ga a 38 abadde mutuuze we Byakabanga mu district ye Rakai akutuse atuusibwa mu dwaliro ekkulu erye Rakai. Ono yeekamiridde obutwa lwabanja lya bukadde 4 ezibadde zimulemye okusasula. Okusinziira ku akulira ebyokunoonyereza ku police […]
Omusumba aluyiseeko
Omusumba Zac Niringiye akkiriziddwa okugenda ku lugendo lwe. Kiddiridde okuleeta paasipoota ye ne tikiti eraga nti abadde alina okugenda mu ggwanga lya Italy ku lunaku lw’okusatu. Niringiye alabiseeko mu maaso g’amyuka akulira ba mbebga ba poliisi e Wandegeya Simon Asaba Ono avunaanibwa kukuma mu bantu […]
Kasasiro ayitiridde
Abakulira distrct ye Jinja baweze abatuuze okukozesa ebipipa bya kasasiro mu district eno. Kati ebimotoka bya kasasiro byaakuvanga nju ku nju nga bikungaanya kasasiro ono. Omwogezi wa town council eno Rajab Kito agamba nti basazeewo kino kubanga abantu abasinga basuula kasasiro mu bipipa bino […]
Okwekalakaasa kuzzeemu
Abayizi bazzzeemu buto okwekalakaasa e makerere . Bano bawakanya eky’okubasasuza ebitundu 60 ku kikumi ekya fiizi mu ssabiiti esooka. Abayizi bano ku luno bakedde nga missa ne beyiiwa ku nguudo z’omu university kyokka nga poliisi ebatebuse mu bwangu era alinga buwuka. Poliisi amaze okuzingako ekifo […]
Museveni awangudde
President museveni awereddwa olukusa okukozesa akayimba ka mpenkoni ng’akake Abasomesa be makerere babiri okuli Mwambusya Ndebesa ne Dr. Deo Nzarwa baali bwakanya eky’okuwa president akayimba kano nga bagamba nti kagatta olunyankole n’olukiga ekintu ekikyaamu. Wabula amyuka omuwandiisi weggwanidisizo ly’ebbintu ebitali bimu omuli enyimba ng’ono ye […]
Omwana awanuse ku muti
Omwana omulenzi abadde alinnye okuwanula ova agudde mu kinnya kya kabuyonjo. Bosco Luswata owe Kasubi Lubya ame emenyese omugongo n’okugulu. Maama w’omwana ono Joyce Naluyima agamba nti namwandu era ng’abadde atembeeya bugoye okufuan eky’okulya. Omukyala ono talina buyambi bwonna era ng’awanjagidde abaddukirize okumuyamba. ALi ku […]
Gwebanyiga ebbeere mu kooti
Akulira abakyala mu kibiina kya FDC Ingrid Turinawe olutalo lwokumunyiga amabeere alututte mu kooti. Ono awaabye aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi ng’ayagala amusasule obukadde bitaano. Turinawe agamba nti ekikolwa kino kyamuswaza eri bba n’abaana be. Ono era ayagala Kaweesui ayogere mu lujjude […]