Amawulire
Besigye ejjeeyo foomu okuvuganya
Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye aggyeeyo foomu z’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga mu mwaka 2016 Empappula zino ziggyiddwaayo banna FDC Wilberforce Kyambadde ne Francis Mwijukye. Besigye yegasse ku Gen Mugisha Muntu ne Moses Byamugisha abajjeeyo edda foomu. Amyuka akulira akakiiko akalondesa Michael Kabaziguruka […]
Buganda enafuuna ebyapa
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ategeezezza obuganda ng’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni bw’agenda okuddiza obwakabaka bwa Buganda ebyapa 80 nga bwekyakkiriganyizibwako mu ndagaano eyatuukibwako mu mwaka gwa 2013. Kinajjukirwa nti gavumenti yakakomyawo ebyapa 213 eri obwakabaka bwa buganda. Mayiga era agambye […]
Bba wa Stecia azzeemu okukwatibwa
Ba wa Stecia Mayanja nga ye Abbas Mubiru azzeemu okukwatibwa mu ttuntu lyaleero. Mubiru akwatiddwa ku kkooti ya Buganda Road gyawerenemba n’emisango emirala egy’okuwuwuttanya obukadde bw’ensimbi obusukka mu makumi ana Mubiru akwatiddwa ba wanyondo ba kkooti ababadde bakulembeddwamu Ismail Magumba wamu ne poliisi. Mubiru abanjibwa […]
Ettaka lye Bugisu litambula
Okunonyereza okukoleddwa ku ttaka ly’oku lusozi Elgon kulaga nti enjatika zikyatambula Bano abasinze okutunuulira disitulikiti ye Buduuda agambye nti bakizudde nti ettaka, ensozi byonna byetoloola nga mu biseera bitono wajja kubaawo okubumbulukuka kw’ensozi Mu march wa 2010, ettaka lyabumbulukuka abantu 350 nebabikkibwa ng’abasigalawo abasinga basengulwa […]
Mwekwate quran mu kisiibo
Abayisiraamu basabiddwa bulijjo okwongera okusoma ekitabo ekitukuvu ekya quran mu mwezi guno omutukuvu ogwa Ramadhan Kinnajjukirwa mu mwezi guno Quran mweyakkira era nga ne nabbi Muhammed yanyiikiranga okugisoma Imam w’omuzikiti gwe Najjanankumbi Ahmed Kyeyune agambye nti okusoma Quran kabonero kalungi ak’obwetowaze kale nga buli omu […]
Eddwaliro lisaanye okukuzibwa
Abatwala eddwaliro lya gavumenti erya Mukono Health Centre 4 bagamba balina essuubi nti eddwaliro lino lyakulongooka. Omukulembeze w’eggwanga yasuubiza okuyambako mu kuzimba ebizimbe by’eddwaliro lino kisobozese minisitule y’ebyobulamu okulisuumusa okudda ku ddaala ly’eddwaliro eddene wabula kati kitutte ebbanga. Akulira eddwaliro lino Dr. Godfrey Kasirye […]
Temwewola ssente- Muka Museveni
Minisita w’ensonga za Karamoja era mukomukulembeze w’eggwanga Janet Kataha Museveni alabudde abavuzi ba taxi n’abagoba ba bodaboda okwewala okwewola ensimbi buli kiseera wabula beterekere okusobola okwetandikirirawo emirimu emirala. Nga ayogerako eri abantu bano, mukyala Museveni y’ategezezza nga basajja battu bu bizinesi bwabwe bwebutwalibwa abawozi b’ensimbi […]
Ebya Mbabazi ssi byebikulu
Ababaka b’akabondo k’ekibiina kya NRM ssibakuteesa ku nsonga z’eyali ssabaminisita w’eggwanga wabula ensonga z’ekibiina endala ez’etagisa okukolebwko amangu ddala. Kino kiddiridde ssentebe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga okuyita abababaka b’akabondo ka NRM okuteesa ku ku nsonga ez’enjawulo mu kibiina. Omwogezi w’akabondo k’ababaka bano Hamson […]
Abasamirira e Kasubi bagobeddwa
Ssabasajja Kabaka wa Buganda alagidde Katikiro w’amasiro ge Kasubi agobe abatundirayo eddagala wamu n’abo abasamirira mu kifo kino. Okiragiro kino akitisse Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu lukiiko lwa Buganda olugenda mu maaso wali e Bulange Mengo. Beene era ayingidde mu kusika omuguwa wakati […]
Abadde asiiba mu yisirayiri ayimbuddwa
Eggwanga lya Israel likkirizza okuyimbula omusibe omufirisuuti asiibye enjala kati ennaku 55. Israel etegezezza nga embeera ya Khader Adnan, 37 bweyeralikiriza wabula nga wakutandika okulya n’okunywa era ayimbulwe mu wiiki 2. Wabula Israel etegezezza nti yadde nga ono bagenda kumuyimbula, wattabu nyo eri ensi yonna. […]