Amawulire

Bamaseeka bawanze muliro ku kutibwa kwa Sheikh  Kirya.

Bamaseeka bawanze muliro ku kutibwa kwa Sheikh Kirya.

rmuyimba

July 1st, 2015

No comments

Bamaseeka bawanze muliro ku kutibwa kwamunaabwe Sheikh Hassan Kirya. Muboogedde kwekubadde Sheikh Nuhu Muzaata Batte , nga ono aweze nti singa poliisi tevaayo nakunonyereza kwankomeredde ku banaabwe abazze batibwa bakwekalakaasa. Ono era alagidde emizikiti okuli Nakasero ne William Street gigalwe nti gyegimu ku givuddeko enkaaya […]

Kaihura ayogedde ku kutibwa kwa sheik Kirya

Kaihura ayogedde ku kutibwa kwa sheik Kirya

rmuyimba

July 1st, 2015

No comments

Ssabapoliisi wa uganda Gen Kale Kaihura bwategeezeza nga mukaseera kano naye bwaswala okutunula ku bayisiramu buli kaseera nga azze okukungubagira abatidwa. Bwabadde ayogerera mukusabira omulambo gwa Kirya e Kibuli kaihura agambye nti amazima gali nti police ne government eewulira amaloboozi, kko nokunyorwa kwabayisramu, wabula buli […]

Akabenje ke motooka e Nakirebe

Akabenje ke motooka e Nakirebe

rmuyimba

July 1st, 2015

No comments

Abantu basaatu bebakakasidwa okuba nga bafiridewo mu kabenje ke motooka akaguude e Nakirebe ku lwe Masaka era nga kabademu emotooka musaanvu rindirila agasingawo ku gurile lino

Akabenje k’enyonyi- Omuwendo gw’abafudde gweyongedde

Akabenje k’enyonyi- Omuwendo gw’abafudde gweyongedde

Ali Mivule

July 1st, 2015

No comments

Omuwendo gw’abantu abakafa oluvanyuma lw’akabenje k’enyonyi mu ggwanga lya Indonesia gulinye okutuuka ku bantu 141 mu kibuga Medan. Amagye gakakasizza nga abantu bonna 122 abaabadde ku nyonyi bwebatalutonze oluvanyuma lw’enyonyi okutomera woteeri n’emmotoka n’ekwata omuliro.   Abaasinze okufa baabadde banganda b’abajaasi nebakyala baabwe.

Abagambibwa okutega bbomu ezatta abantu badda leero mu kkooti

Abagambibwa okutega bbomu ezatta abantu badda leero mu kkooti

Ali Mivule

July 1st, 2015

No comments

Okuwulira omusango gw’abateberezebwa okutega bbomu mu 2010 nezitta bannayuganda abasoba mu 70 kuddamu olwaleero. Bannamateeka b’enjuyi zombi basuubirwa okuwaayo okusaba kwabwe ku kya kkooti okukkiriza oba okugaana obujulizi obwawereddwayo omuserikale wa poliisi Moses Kato. Olunaku lw’eggulo Moses Kato y’awadde obujulizi nga bweyawandiika sitetimenti y’omu ku […]

Temuzibira muntu yenna- DP eri NRM

Temuzibira muntu yenna- DP eri NRM

Ali Mivule

July 1st, 2015

No comments

  Ab’ekibiina kya DP bawadde ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM amagezi obutazibira kkubo Muntu yenna ayagala kwesimbawo ku bwapulezidenti munda mukibiina kyabwe. Omwogezi w’ekibiina kya DP Kenneth Kakande bino0 abyogedde ayanukula ebbaluwa y’ekibiina kya NRM nga yegaana eyali ssabaminisita Amama Mbabazi. Kakande agamba ebikolwa […]

Okuwandiisa abagenda okukwata bendera ya FDC  kutandika leero

Okuwandiisa abagenda okukwata bendera ya FDC kutandika leero

Ali Mivule

July 1st, 2015

No comments

Okuwandiisa abagenda okukwatira ekibiina kya FDC bendere mu kalulu ka 2016 kutandika  leero. Ku ssaawa mukaaga  eyali ssenkagale w’ekibiina kino Dr. Kiiza Besigye asuubirwa okuwandiisibwa  nga ye  ssenkaggale w’ekibiina Maj. Gen Mugisha Muntu asuubirwa lunaku lwankya. Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kino Dan Mugarura ategezezza […]

Sheikh Hassan Kiirya atemuddwa

Sheikh Hassan Kiirya atemuddwa

Ali Mivule

July 1st, 2015

No comments

Ennaku ezzemu okuzingako abayisiraamu b’eggwanga oluvanyuma lw’okuttibwa kwa sheikh Hassn Kirya. Sheik Hassan Kiirya y’abadde omwogezi w’ekibuli era y’atiddwa ekiro ekikeesezza olwaleero. Okusinziira ku akola nga supreme Mufti  Sheik Mahmood Kibaate, sheikh Kirya y’abadde ava kusaala talawuya wali mu Ndeeba kumpi n’akayanja ka Kabaka nebamuttira […]

Buganda efunye ebyapa ebirala

Buganda efunye ebyapa ebirala

Ali Mivule

June 30th, 2015

No comments

Pulezidenti Museveni mu butongole ekwasizza Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ebyapa 82 ebiddiziddwa Obwakabaka bwa Buganda. Omukolo guno gubadde mu maka g’obwa pulezidenti Entebbe era nga gwetabiddwako omulangira David Wasajja, omwogezi wa Buganda Denis Walusimbi n’abalala. Gavumenti ekiikiriddwa omuwolereza wa gavumenti Fred Ruhindi. Ono […]

Olwokaano lw’anakwata bendera ya FDC lunyikidde

Olwokaano lw’anakwata bendera ya FDC lunyikidde

Ali Mivule

June 30th, 2015

No comments

Olwokaano kw’okufuna anakwatira ekibiina kya FDC bendera lusigaddemu abantu kati babiri oluvanyuma lw’okusatu okupondoka Moses Byamugisha yeeyasooka okutandika kakuyege kyokka nga kati abivuddemu. Mu kaseera kano Dr. Kiiza Besigye  ne Maj Gen Mugisha Muntu beebasigadde mu lwokaano, era nga bano beebagenda okweriga nga okulonda kutuuse. […]