Amawulire

Balumbye eddwaliro

Ali Mivule

July 2nd, 2015

No comments

Emirimo ku ddwaliro lye Kasana mu Luweero gisanyaladde ,nga kino kiddiridde ekibinja ky’abantu okulumba eddwaliro lino, nga baagala okutta abavubuka ababadde batwaliddwaayo nga bateberezebwa okubeera abanyazi. Agavaayo galaga ng’abavubuka 2 okuli Farouk Kafeero ne Musa Kayondo bwebaakwatiddwa ku kyalo Kattambwa mu gombolola ye kikyusa nga […]

Teri kusonda nsimbi mu masinzizo

Ali Mivule

July 2nd, 2015

No comments

Akakiiko akagatta enzikiriza ezenjawulo kaweze emikolo gy’okusonderako ensimbi mu masinzizo gonna ekiseera ekigere nga eggwanga lyetegekera akalulu ka 2016. Nga ayogerako nebannamawulire olwaleero ssabalabirizi w’ekanisa ya Uganda Stanley Ntagali ategezezza nga okusonda ensimbi kuno bwekuteeka akabuuza ku kitiibwa ky’e kanisa. Ntagali era alangiridde nga bwebategese […]

Munonyereze ku mivuyo mu nguudo

Ali Mivule

July 2nd, 2015

No comments

Minisita w’emirimu n’ebyenguudo  John Byabagambi asuubizza okuwagira akakiiko akatekebwawo okunonyereza ku mivuyo mu kitongole ky’ebyenguudo. Nga atongoza emirimu gy’akakiiko kano , Byabagambi asabye abatuula ku kakiiko kano okwetongola mu mirimu gyabwe era bagikole mu bwerufu. Akakiiko kano ak’abantu 5 katandise leero egyako nga katandikidde ku […]

Kaihura awummule- JEEMA

Ali Mivule

July 2nd, 2015

No comments

Ab’ekibiina kya JEEMA basabye ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura alekulire kubanga alemereddwa okuzuula abatta abakulembeze b’abayisiraamu. Olunaku lw’eggulo seeka omulala Ibrahim Hassan Kirya nga y’abadde omwogezi w’obukulembeze bw’ekibuli naye y’atiddwa abantu abatanategerekeka wali e Bweyogerer kumpi n’ettaawo. Omwogezi w’ekibiina kino  Swaib Kaggwa Nsereko ategezezza nga […]

Jeema basabye Gen Kale Kayihura alekulire

Jeema basabye Gen Kale Kayihura alekulire

rmuyimba

July 2nd, 2015

No comments

JEEMA basabye ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura alekulire kubanga alemereddwa okuzuula abatta abakulembeze b’abayisiraamu. Olunaku lw’eggulo seeka omulala Ibrahim Hassan Kirya nga y’abadde omwogezi w’obukulembeze bw’ekibuli naye y’atiddwa abantu abatanategerekeka wali e Bweyogerer kumpi n’ettaawo. Omwogezi w’ekibiina kino Swaib Kaggwa Nsereko ategezezza nga poliisi okunonyereza […]

Obwa Kyabazinga bulabudde bannabyabufuzi

Obwa Kyabazinga bulabudde bannabyabufuzi

Ali Mivule

July 2nd, 2015

No comments

Obwakyabazinga bwa Busoga buyisizza ekiwandiiko ekirabula bannabyabufuzi okwewala eby’obufuzi ebitematema mu bantu. Omwogezi w’obwakuabazinga  Andrew Inkange y’ayisizza ekiwandiiko kino oluvanyuma lw’okwekalakaasa okwategekeddwa abawagizi bab pulezidenti Museveni. Bano balabudde eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi obutageza kulinya kigere kyonna ku ttaka ly’obwaKyabazinga nti anoonya kalulu. Inkange agambye […]

Muntu alabudde poliisi ku lyaanyi

Muntu alabudde poliisi ku lyaanyi

Ali Mivule

July 2nd, 2015

No comments

Ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Maj General Mugisha Muntu avumiridde ekyapoliisi okumala gakubanga masasi mu bantu. Kiddiridde ebigambibwa nti poliisi yeyakubye omu ku bawagizi b’ekibiina amasasi agamutuusizza nekukitanda. Omuvubuka ono eyategerekese nga  Geoffrey Bbaale kigambibwa nti y’akubiddwa essasi mu kavuvungano ne poliisi bweyabadde okubatangira okukubira mu […]

Besigye asunsuddwa

Besigye asunsuddwa

rmuyimba

July 1st, 2015

No comments

Eyali ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Dr.Kiiza Besigye asunsuddwa okwesimbawo ku ky’okukwatira ekibiina kino bendera y’okulonda kwa pulezidenti okwa 2016. Besigye asembeddwa Jack Sabiiti ,Nabosaa Ssebuggwawo n’abalala Wabula wasoose kubaawo kakyankalano nga abawagizi ba Besigye batambula okwolekera ekitebe ky’ekibiina wali e Najjanankumbi nga bano poliisi ebakubyemu […]

E Kasese embeera bwekyali yabunkenke

E Kasese embeera bwekyali yabunkenke

rmuyimba

July 1st, 2015

No comments

Kasese galaga nga embeera bwekyali yabunkenke, nga kino kidiridde emigga okuli Nyamwamba ne Nyamugashani okubimba olwenkuba ebadde efudemba ensangi zino. Agavaayo galaga nga amataba bwegazinzeeko edwaliro elye kitembe , eranga mukaseera kano abaduukirize bagezaako okugyayo abalwadde ababade mu dwaliro lino. Twogedeko ne mayor we kasese […]