Amawulire

Pasita afeze bamulekwa ne bannamwandu

Pasita afeze bamulekwa ne bannamwandu

Ali Mivule

August 5th, 2015

No comments

Poliisi ye  Fort Portal eriko omusumba w’abalokole gw’ekutte ku bigambibwa nti yafeze bannamwandu nebamulekwa obukadde bw’ensimbi. Paasita ono ataatuddwa mannya yasuubizza okuyamba bamulekwa ne bannamwandu nga era abadde ava kyalo ku kyalo nga awandiisa abantu bano nga buli omu alina okusasula 25,000. Omufere ono yabasuubizza […]

Sheikh Omulala asimattuse okuttibwa

Ali Mivule

August 5th, 2015

No comments

Poliisi ye Mbale eriko basajja baayo 2 bekutte wamu n’okuwummuza 13 lwakwebulankanya ku mirimu. Ku bakwatiddwa kuliko n’akulira poliisi ye Nakaloke Collin Ahasibwe. Kino kiddiridde abatemu okugezaako okulumba amaka ga   Sheikh Asadi Mujansi nga ono muganda wa seeka Rashid Wafula nebagezaako okumukuba amasasi. Aduumira ebikwekweto […]

Lukwago akkirizza okwetonda kwa Mao

Ali Mivule

August 5th, 2015

No comments

Loodi meeya wa Kampala  Erias Lukwago akkirizza okwetonda kwa ssenkaggale w’ekibiina kya DP  Norbert Mao. Olunaku olw’eggulo  Mao yetondedde Lukwago olw’ebisongovu bweyamuwerekereza oluvanyuma lwa Lukwago okusimbira ttabamiruka w’ekibiina ekkuuli.   Wabula Lukwago agamba  okwetonda kwa Mao kulina okuwerekerezebwako ebikolwa mu kuzza obumu mu kibiina.   […]

Makerere terina baasa

Ali Mivule

August 5th, 2015

No comments

Akakiiko ka palamenti akalondola ensansanya y’omuwi w’omusolo kawadde ettendekero ly’e Makerere emyezi 2 gyokka nga bafunye baasa omujjuvu.   Ababaka abatuula ku kakiiko kano balaze obutali bumalirivu olw’ettendekero ekkulu okumala emyaka 2 nga tebalina baasa sso nga gavumenti ebawa ensimbi nyingi okuddukanya emirimu   Ssentebe […]

Eryaato libbidde- abaana babiri bafudde

Ali Mivule

August 5th, 2015

No comments

Abaana babiri bafudde oluvanyuma lw’eryato kwebabadde batambulira okutomeragana n’eryato ly’abavubi ku Nyanja Nalubaale mu ggwanga lya Kenya. Abavubi basobodde okununula abantu abalala 21 ku 23 ababadde ku lyato lino nga era bebazudde n’emirambo gy’abaana bano. Akabenje kano kaguddewo ku ssaawa nga bukya nga era mu […]

Aba UPC basonze mu gavumenti okubatabula

Ali Mivule

August 5th, 2015

No comments

Ab’ekibiina kya  Uganda People’s Congress balumirizza gavumenti okweyingiza mu nsonga z’ekibiina kyabwe n’eretawo enjawukana.   Bweyabadde ayogerako eri bannamawulire mu Arua ,omwogezi w’ekibiina Okello Lucima ategezezza nga byonna bwebikoleddwa lwa bigendererwa bya pulezidenti Museveni.   Agamba poliisi okwongera okugumba ku kitebe kyabwe ekiri ku Uganda […]

Municipaali endala zijja

Municipaali endala zijja

Ali Mivule

August 4th, 2015

No comments

Olukiiko lwa ba minisita lutandise okukubaganya ebirowoozo ku municipaali empya ttaano ezigenda okutondebwaawo. Minisita akola ku gavumenti ez’ebitundu Adolf Mwesigye ategeezezza nti ebibuga15 byebyasaba okufuulibwa municipaali kyokka bitaano byebyayitamu okuli  Mbarara, Arua, Gulu, Jinja ne Mbale byebyayitamu Mwesigye era anyonyodde nti ekigendererwa mu kino kutuusa […]

Eyabadde anoba n’omwana atemeddwatemeddwa

Eyabadde anoba n’omwana atemeddwatemeddwa

Ali Mivule

August 4th, 2015

No comments

Omusajja atemyetemye mukyala we lwa kumusaba kunoba na mwana we. Sylivia Nakigudde y’akiguddeko Gerald Kaggwa gw’alinamu omwana omu bw’asoowaganye naye wabula mukwawukana n’amusaba obutanoba na mwana we. Omukyala ono agaanye era wano weewavudde olutalo omusajja n’amutemateemaomutwe gwonna. Bino bibadde ku kyalo Buziba e Buwaya ku […]

Eyasse munne agguddwaako gwa ttemu

Eyasse munne agguddwaako gwa ttemu

Ali Mivule

August 4th, 2015

No comments

Omuvubuka eyasse munne ng’amulanga okumwagalira omukazi bamugguddeko gwa butemu. Ivan Kamyuka nga y’atwala abakozi mu kkampuni ya Lake Bounty Ltd asimbiddwa mu kkooti olw’eggulo lwaleero n’asomerwa emisango.   Kamyuka omutuuze we Kisaasi Kyanja mu divizoni ye Nakawa asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka e Nakawa […]

Bakaggw’ensonyi basusse

Bakaggw’ensonyi basusse

Ali Mivule

August 4th, 2015

No comments

Omubaka wa palamenti akiikirira abalina obulemu ku mibiri gyabwe mwenyamivu olw’agasajja gakagwensonyi agesomye okukabasanya abaana abalina obulemu ku mibiri gyabwe. Nga ayogerako eri abantu ku bikujjuko by’esomero lyabakiggala e Mbale , omubaka Hellen Asamo, y’ategezezza nga abasajja abasinga bwebanguyirwa okusobya ku baana bano olw’obulema. Agamba […]