Amawulire

Aba NRM balonda lwa kusatu

Ali Mivule

September 28th, 2015

No comments

Kyaddaaki ekibiina kya NRM kitaddewo olw’okusatu luno ng’olunaku kwebagenda okulondera abakulembeze b’ebyaalo mu gombolola ye Rubaga wano mu  Kampala. Kinajjukirwa nti okulonda kuno kwayimirizibwa oluvanyuma lw’abantu abawerako okwemulugunya ku mivuyo egyetobeka mu kulonda kwonna, era nga mu kaseera kano akalulu kakubibwa ku kitebe kya NRM […]

Seya bamugobye

Ali Mivule

September 28th, 2015

No comments

Eyaliko meeya wa Kampala r Al- Hajji Nasser Ssebaggala  alemereddwa okutwala ebyetaagisa okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga. Ssebaggala olw’eggulo lwaleero abadde azizzaayo emikono gy’abantu abamusemba, wabula nekizuulibwa nti olukalala lwabadde aleese lubaddeko akabuuza Wabula Ssebaggala  atugambye nti abantu be mu kaseera  kano bakola kyonna ekisoboka okukola […]

Brig Tumukunde akuziddwa- Kati Lt. Gen- abuuse amadaala

Brig Tumukunde akuziddwa- Kati Lt. Gen- abuuse amadaala

Ali Mivule

September 28th, 2015

No comments

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni akuzizza   Brigadier Henry Tumukunde okutuuka ku ddaala lya  Lt. General mu magye Lt Gen Tumukunde nga era yeyali akulira obukessi bwomunda mu ggwanga abuse eddaala lya Major General n’aweebwa erya Lt General. Ono nga yalwana olutalo olwaleeleta gavumenti eriko mu buyinza […]

Aba FDC batabukidde bamemba baabwe abawagira Mbabazi

Aba FDC batabukidde bamemba baabwe abawagira Mbabazi

Ali Mivule

September 28th, 2015

No comments

Bannakibiina kya FDC bonna abanawagira eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick mu kalulu ka pulezidenti omwaka ogujja  bolekedde okugobwa mu kibiina. Kino kiddiridde ebiyitingana  nti waliwo ab’aludda oluvuganya okuli nebannakibiina abasoba mu 300 abatinkiza n’eyali ssabaminisita Mbabazi neberabira owaabwe Dr Kiiza Besigye. Omwogezi w’ekibiina kya FDC […]

BYandaala bamuleeseeko obujulizi

BYandaala bamuleeseeko obujulizi

Ali Mivule

September 28th, 2015

No comments

Ofiisi ya Kaliisoliiso wa gavumenti etegezezza nga bweyagudde ku bujulizi obugenda okubayamba okusingisa eyali minisita w’ebyenguudo nga kati minisita atalina mulimu gwankalakalira Abraham Byandala ne banne ku mivuyo gy’oluguudo lwe Katosi. Munnamateeka wa gavumenti  Thomas Okoth ategezezza kkooti ewozesa abakenuzi kati asabyeyo akadde akalala okwongera […]

Mbabazi alondeddwa ku mukago

Mbabazi alondeddwa ku mukago

Ali Mivule

September 25th, 2015

No comments

Abavuganya gavumenti wansi w’omukago gwa The Democratic Alliance balonze eyali ssabaminisita Amama Mbabazi okukwata bendera y’omukago gwaabwe omwaka ogujja Mbabazi awangudde Dr Kiiza Besigye gw’abadde naye mu lwokaano. Abawagidde Mbabazi kuliko aba DP eya Norbert Mao, aba Uganda Federal Alliance abakulembeddwaamu Betty Kamya, Gilbert Bukenya, […]

Abesimbyeewo bazizzaayo foomu

Abesimbyeewo bazizzaayo foomu

Ali Mivule

September 25th, 2015

No comments

Abeesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga bakyagenda mu maaso n’okuzzaayo foomu okukakasibwa akakiiko akalondesa. Mu kadde kano akulira ekibiina kya Peoples Development Party Dr Abed Bwanika y’agenda mu maaso n’okusunsulwa. N’aba FDC nga bakulembeddwaamu akulira akakiiko akalondesa Dan Mugarura y’akulembeddemu aba FDC okutwala emikono. Mugarura agambye nti […]

Omu afiiridde mu Kavuyo

Omu afiiridde mu Kavuyo

Ali Mivule

September 25th, 2015

No comments

Omuntu omu afudde n’abalala 10 nebalumizibwa mu kavuyo wakati w’omubaka Emmanuel Dombo ne munne bwebavuganya Moses Musamba. Omugenzi ategerekese nga Deo Yona ow’emyaka 34 nga mutuuze ku kyaalo Bingo e Butalejja Afudde abadde muwagizi wa Dombo omubaka we Bunyole e Butalejja. Bano bavuganya kulondako ani […]

Musanvu battiddwa ku Eid

Musanvu battiddwa ku Eid

Ali Mivule

September 25th, 2015

No comments

Poliisi ekakasizza nti abantu musanvu beebafiiridde mu bikujjuko bya Eid Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga Polly Namaye agambye nti ku musanvu bano, abasatu baafiridde mu bubenje ate abasigadde bakubiddwa miggo abantu abatwalidde amateeka mu ngalo. Namaye wabula agamba nti ng’oggyeeko ebyo, ebikujjuko bya Eid […]

Palamenti teteesezza byakulonda

Palamenti teteesezza byakulonda

Ali Mivule

September 25th, 2015

No comments

Palamenti esikiriddemu okusabira abayisiraamu abafiiridde e Mecca Abantu 700 beebafudde mu kanyigo akaabadde a Mina mu kukuba ebiwagi. Sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga agambye nti amawulire gano gannaku era n’asaasira abaviiriddwaako abaabwe Mu ngeri yeemu layongezezzaayo palamenti okutuuka ku lw’okusatu ssabbiiti ejja. Kiddiridde ab’akakiiko akakola […]