Amawulire
Mukaaga balumiziddwa mu kabenje
Abantu mukaaga beebalumiziddwa mu kabenje akabadde wali ku luguudo lwa Lumumba mu kibuga. Taxi namba UAS 757P ekubye akagulumo ng’ekkirira mu paaka enkadde neyefuula. Abalumizidddwa kuliko Andrera Nakaweesa, Catherine Nabukenya, Namutebi Lydia Thomas, Okoko, Julius Mulindwa ne Sandra Nalugo nga baddusidddwa mu ddwaliro e Mulago. […]
Ssabasajja akunze abavubuka
Ssabasajja Kabaka wa Buganda akunze abavubuka okukola kyonna ekisoboka okusobola okweyimirizaawo okwewala okusabiriza. Obubaka buno omutanda abutisse Katikkiro ku mikolo gy’olunaku lw’abavubuka mu Buganda egibadde wali ku ssaza e Kyaddondo . Omutanda agambye nti omulembe gwe yaguwa bavubuka kyokka nga tebirina kukoma mu bigambo . […]
Manifesto ya NRM- Essira ku bya mirimu
Ekibiina kya NRM kyanjizza enteekateeka yaakyo ey’emyaka ettaano egijja giyite manifesto. Ekibiina kino essira kyakulissa ku kwongera okunyweza eby’okwerinda kubanga gwemusingi okuzimbibwa ekibiina. SSentebe wa NRM era nga y’akutte bendera ku ky’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni agambye nti ng’oggyeeko ebyo, essira lyakussibwa ku by’emirimu okulaba abavubuka […]
abesimbyeewo bategeraganye
Abesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga bassizza emikono ku ndagaano mwebasuubirizza okugoberera amateeka. Abesimbyeewo bano abawera omunaana bakkiriziganyizza okukola awatali kukubagana. Owa FDc Dr Kizze Besigye wakutandikira Rukungiri, Mbabazi agenda Masaka , Museveni wa Luweero, ate yye Prof Baryamureeba ategeezezza nti wakutambula ne Mbabazi. Omukyala yekka Kyalya […]
America erumbye South Africa
Omukulembeze we gwanga lya America aboggokedde egwanga lya South Africa ku nnati zebassa ku nkoko zaabwe Kati South Africa erina ennaku 60 okukyusa mu byebasalawo oba ssi kkyo ebyaabwe ssi byakutuuka mu America. Ekkoligo lino aba South Africa balirangirira ku nkomerero y’omwaka oguwedde oluvanyuma lwa […]
Omusirikale afudde omwenge
Waliwo eyali omusirikale wa poliisi asangiddwa nga afiiridde mu nyumba oluvanyuma lw’okunywa omwenge. Omuduumizi wa poliisi e Mbale Peter Mugabi akakasizza okufa kwa Copolo Mathew Matasi abadde omutuuze we Koyi muuluka gwe Bubesa mu gombolola ye ye Nyondo. Ono asangiddwa nga yafiira mu nyumba ye […]
10 beebafiira mu bubenje
Abantu 10 beebafiridde mu bubenje obwenjawulo ku nguudo ku luguudo lwe Masaka mu bbanga lya mwezi gumu gwokka. Atwala poliisi y’ebidduka e Masaka James Tibaijuka bino y’abitegeezezza bannamawulire bw’abadde asoma alipoota ekwata ku by’entambula. Obubenje 16 bwebubaddewo mu mwezi oguwedde,nga ku buno 8 ddekabusa, 7 […]
Abasima zaabu bakaaba
Abasuubuzi ba zaabbu n’abamusima mu district ye Mubende balajanidde pulezidenti Museveni okubayamba mu kunyweza eby’okwerinda byaabwe mu birombe bya Zaabu ono ebiri mu kitundu kino olw’omuwendo gw’abantu abafa okweyongera obungi nga batemulwa ne babibwako ensimbi ng’ettaka libaziika olw’obutafuna byuma bigunduuza kubasimulayo n’obutaba na poliisi emala […]
UNRA nvundu- Kagina
Akulira ekitongole ky’enguudo ekya UNRA Allen Kagina agamba nti ekitongole kino kisenseddwa nnyo enguzi era nga buli kimu gikolebwa gadibe ngalye. Bw’abadde alabiseeko mu kakiiko akanonyereza ku mivuyo egiri mu kitongole ky’akulira , Kagina agambye nti emyezi omukaaga gy’amaze mu kitongole kino akizudde nti kkampuni […]
Ababbi bakwatiddwa
Poliisi mu gomboloola ye Kitenga e Mubende ekoze ekikwekweto mwekwatidde ababbi be mbuzi mumwenda (9) ababadde bafuuse ekizibu mu kitundu mu kubba ebisolo bya batuuze nga babitwala okubiwasamu abakazi. Ababbi bano bakwatiddwa muluka gwe Bugalya mu gombolora ye Kitenga e Mubende n’embuzi mwenda z’ebabadde bakukusa […]