Amawulire

Obukadde 15 beebagenda okulonda

Obukadde 15 beebagenda okulonda

Ali Mivule

November 30th, 2015

No comments

Akakiiko akalondesa mu ggwanga kakasizza nti abantu abaweza obukadde 15 beebagenda okwetaba mu kalulu ka 2016 Akulira akakiiko akalondesa Eng Badiru Kiggundu agamba nti bano beebokka abali ku lukalala lw’abalonzi. Eng Kiggundu agamba nti bamalirizza ku lukalala olugenda okukozesebwa era nga bakuluwanika akadde konna. Olukalala […]

Olukiiko lwa Lukwago luyimiriziddwa

Olukiiko lwa Lukwago luyimiriziddwa

Ali Mivule

November 30th, 2015

No comments

Poliisi mu Kampala erinnye eggere mu Lukiiko olutegekeddwa loodimeeya wa Kampala Erias Lukwago. Lukwho olukungaana lwe olusooka abadde wakulukuba mu katale e Nakasero kyokka nga poliisi ku ssaawa envanyuma etegeezezza nti olukungana luno lusobola okutataganya emirembe. Kino nno kirese abawagizi be nga bawanda muliro nga […]

Paapa akunze ku bumu

Paapa akunze ku bumu

Ali Mivule

November 30th, 2015

No comments

Paapa Francis akunze abantu mu ggwanga lya Central African Republic okulekera awo okulwana nga bekwasa eddiini Paapa agambye nti tewali njawulo wakati wa bayisiraamu n’abakirisitu nga bonna baluganda. Paapa ayogerako eri abakirisitu mu kibuga Bangui nga bano baddukira mu muzikiti olw’okuyiggibwa abakirisitu. Mu kukyala kwa […]

Abe Makerere batabuse

Abe Makerere batabuse

Ali Mivule

November 30th, 2015

No comments

Ab’ettendekero ekkulu erye Makerere baliko abayizi abali mu 1000 beebalemesezza okutuula ebigezo ebifundikira olusoma lwabutasasula bisale. Omwogezi w’ettendekero lino Ritah Namisango agambye nti abayizi bano babanjibwa obuwumbi 12 abatannasasula bukyanga lusoma lutandika mu gw’omunaana. Namisango agambye nti buli bayizi lwebatasasula kikosa entambuza y’emirimu olwo ate […]

Paapa agenze mu muzikiti

Paapa agenze mu muzikiti

Ali Mivule

November 30th, 2015

No comments

Abantu abanjawulo bakunganidde mu muzikiti omukulu mu kibuga Bangui mu ggwanga lya Central African Republic okwaniriza Paapa Francis. Paapa y’ategezezza nga bweyabadde tayinza kuva mu ggwanga lino nga tabuuzizza ku bayisiramu abayigibwa banaabwe abakatuliki mu lutalo lw’eddiini olukwajja munda mu ggwanga lino. Abayisiramu abasoba mu […]

Eyali akulira abasawo ejiddwaako ogw’amayisa

Eyali akulira abasawo ejiddwaako ogw’amayisa

Ali Mivule

November 30th, 2015

No comments

Eyali ssentebe w’ekibiina akigatta abasawo mu ggwanga  Apollo Dalton Nyangasi awonye okufiira mu kkomera oluvanyuma lwa kkooti ejulirwaamu okumusalira ku kibonerezo ky’okusibwa amayisa nga kati wakusibwa emyaka 25. Kkooti enkulu y’ali emusibye mayisa olw’okusingisibwa omusango gw’okutta mukyalawe Christine Dambio  nga 24 July 2010. Obujulizi bw’alaga […]

Anywar alumbye aba FDC- Mumboola

Ali Mivule

November 30th, 2015

No comments

Omubaka omukyala ow’e Kitgum Beatrice Anywar alumbye olukungaana lw’ekibiina kya FDC nga ayagala ssenkaggale w’ekibiina kya FDC amubulire lwaki ekibiina kyamusulawo.   Anywar kati ayagala kuvuganya ku kifo ky’omukiise omujuvu owa disitulikiti ye Kitguma.   Kino kiddiridde eyali akulira abayizi ku sstendekero w’e Makerere  Denis […]

Emotoka ekoonye omuyizi n’afiirawo

Ali Mivule

November 30th, 2015

No comments

Entiisa ebutikidde abatuuze mu tawuni ya kalungu oluvanyuma lw’emmotoka etanategerekeka okutomera omwana ow’emyaka 4 n’emutta yo n’ebulawo.   Omugenzi ategerekese nga  Ritah Namigadde muwala wa  Charles Ssenabulya omuyizi ku ssomero lya  Bright Light Nursery school Kalungu .   Omwana ono abadde abeera ne jajjawe  Base […]

Akakiiko akalondesa katabukidde bannakyeewa

Ali Mivule

November 30th, 2015

No comments

AKakiiko k’ebyokulonda kaweze okusazamu obumu ku bubaka bw’ebibiina by’obwanakyewa obuli ku mikutu gy’amawulire obukunga bannayuganda ku  kulonda okwamazima n’obwenkanya.   Ssentebe w’akakiiko kano  Eng Badiru Kiggundu agamba obubaka obumu nga obw’ekibiina kya CEDU obwa TOPOWA bwebuwuddiisa bannayuganda ku nsonga z’ebyokulonda.   Eng Kiggundu agamba obubaka […]

Poliisi eyimirizza Lukwago

Ali Mivule

November 30th, 2015

No comments

  Poliisi yekyusirizza mu kiti nga embazzi negaana loodi meeya Erias Lukwgo okugenda mu maaso n’olukungaana lwe olutongoza kampeyini ze mu katale ke Nakasero.   Poliisi yasooka kukkiriza Lukwago okukuba olukungaana luno wabula kati omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango ategezezza nga olukungaana […]