Amawulire

Aba FDC bakwetaba mu kukubaganya ebirowoozo

Aba FDC bakwetaba mu kukubaganya ebirowoozo

Ali Mivule

January 14th, 2016

No comments

Ab’ekibiina kya FDC beekubye endobo nga kati bakwetaba mu kukubaganya ebirowoozo okutegekeddwa eri abo bonna abesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga. Omwogezi wa FDC Ibrahim Semujju Nganda agamba nti baliko enkiiko zebatuddemu n’abategese  okubaganya ebirowooza era nga bakkirizza nti Besigye agende abeewo. Besigye yali yakomba kw’erima nti […]

Seya akyaali ku Museveni

Seya akyaali ku Museveni

Ali Mivule

January 14th, 2016

No comments

Eyaliko meeya wa Kampala Alhajji Nasser Ntege Ssebaggala avuddeyo n’awakanya ebigambibwa nti kati ate ayagala pulezidenti Museveni alekulire. Amawulire gafulumye olwaleero nga galaga nti Ssebaggala yabadde kati awagira ekya pulezidenti okuvaako kubanga afuze emyaka mingi nga n’eby’akoze nabyo bingi. Sebaggala agamba nti kituufu Museveni ajja […]

Abavubuka bagaala mirembe

Abavubuka bagaala mirembe

Ali Mivule

January 14th, 2016

No comments

Abavubuka bekozeemu omulimu nga bakutambuza enjiri y’emirembe. Abavubuka bano bagaala kukubiriza banaabwe kwetaba mu kalulu kyokka nga tebakoze mivuyo gyonna. Akulembeddemu abavubuka bano Martin Muganzi agamba nti kino bakikoze okutumbula akalulu akalimu emirembe. Yye omusumba eyawummula Zac Niringiye agamba nti emirembe giyinza kuva mu kuteesa […]

Omukozi eyakabasanya omwana addiziddwaayo e Luzira

Omukozi eyakabasanya omwana addiziddwaayo e Luzira

Ali Mivule

January 14th, 2016

No comments

Omukozi w’emyaka 22 eyemoolera ku mwana wa mukama we omulenzi ow’emyaka 5 n’amukozesa ebya bakulu addiziddwaayo e Luzira mu kkomera. Christine Nakato emisango gye egy’okukabasanya akalenzi gyakuwulirwa mu lutuula lwa kkooti enkulu oluliddako Nakato omutuuze we Walufumbe e Kyanja yeeyali alabirira omwana ono ng’omukozi w’awaka […]

Abadde aloga omulamuzi akwatiddwa

Abadde aloga omulamuzi akwatiddwa

Ali Mivule

January 14th, 2016

No comments

Omusajja ow’emyaka 80 Issa Kiwanuka agguddwaako emisango gy’okuyita w’alina okukma ng’ali mu kkooti. Kiwanuka omutuuze we Mityana yakwatibwa kyeere ng’assa eddagala mu ntebe y’omulamuzi wa Buganda road Jamson Karemani n’ekigendererwa ky’okutta omusango Kiwanuka avunaaniddwa wamu ne Alice Nalule agambibwa okumuwa eddagala lino ng’ayagala bate bba […]

Okutendeka abakozi kutandise

Ali Mivule

January 14th, 2016

No comments

Ettendekero ly’abakozi erya East Africa, litandise okutendeka abakulembeze b’abakozi mu Uganda. Mu kadde kano ebibiina ebirwanirira eddembe ly’abakozi bisoba mu 40 nga byonna bisindise abakiise babiri mu kutendeka okuli e Masaka. Omu ku bakiise b’abakozi Arinaitwe Rwakajara agamba nti ekigendererwa kubangula bantu bantu ku ngeri […]

Munnamawulire ayagala buyambi

Ali Mivule

January 14th, 2016

No comments

Ab’enganda za munnamawulire Andrew Lwanga betaaga doola emitwalo 5 okutwala mutabani waabwe mu America okujjanjabibwa enkizi eyakutuka. Maama wa Lwanga, Jennifer Lwanga ategeezezza bannamawulire nti mutabani we takyasobola kutuula yadde okuyimirira ate nga n’abasawo ba wano babawadde amagezi okugenda ebweru Lwanga owa WBS TV yakubwa […]

Bataano bafiridde mu kabenje

Ali Mivule

January 14th, 2016

No comments

Abantu bataano beebafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Bundibugyo okudda e Nyahuka. Ki FUSO namba UAR-673J nga kitisse emmwaanyi kiremedde omugoba waakyo nekisabaala owa  bodaboda abadde atisse abantu 2 Omwogezi wa poliisi e Rwenzori Bakari Mugga agamba nti akabenje kano kagudde ku kyaalo […]

Ttiyagaasi anyoose e Budaka

Ttiyagaasi anyoose e Budaka

Ali Mivule

January 14th, 2016

No comments

E Budaka Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu bawagizi ba FDCababadde balaba firimu y’ebyafayo bya Besigye ku luguudo. Akavuvungano kano kabadde mu katale akakulu e Budaka. Poliisi eganye okubaako nekyeyogera wabula nga y’asoose kutegeeza nga bano bwebabadde baleeta akavuyo ku luguudo nebabalagira okulwamuka neberema kwekubakubamu tiyagaasi. […]

Abakulira amasomero bali ku bunkenke

Abakulira amasomero bali ku bunkenke

Ali Mivule

January 14th, 2016

No comments

Abakulu b’amasomero mu disitulikiti ye Sembabule agakoze obubi bali mu kutya nti essaawa yonna bandibakwata ku nkoona. Kino kiddiridde amasomero mu kitundu kino okugwa ebigezo bya PLE omwaka oguwedde bw’ogerageranya n’emyaka egiyise. Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti  Paul Nantamu Bwana, agamba amasomero mu kitundu kino gaakoze […]