Amawulire

Abawandiisa abantu kati ssi baffe- Kakiiko akalondesa

Ali Mivule

January 27th, 2016

No comments

Akakiiko k’ebyokulonda kategezezza nga bwewaliwo abantu abefuula abakozi b’akakiiko k’ebyokulonda nebabuuza abantu ebibakwatako ku nsonga y’endagamuntu.   Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng. Badru Kigundu agamba ekigendererwa kyabano tekinategerekeka wabula bandiba nga baagala kugotanya kulonda kw’omwezi ogujja.   E Mukono poliisi eriko omusajja gw’ekutte oluvanyuma lw’okusangibwa nga […]

Obululu butuuka nkya

Ali Mivule

January 27th, 2016

No comments

Obululu bw’abesimbyewo ku bwapulezidenti n’obubaka bwa palamenti busuubirwa okutuuka mu ggwanga olunaku lwenkya.   Obukonge buno bwakubiddwa mu ggwanga lya South Africa nga era kuliko n’abakyala abanakiikirira disitulikiti mu palamenti.   Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng Badru Kiggundu agamba nti bakakafu nti obululu buno bwakutuuka mu […]

Kaihura tali waggulu wa tteeka- Bannakyeewa

Ali Mivule

January 27th, 2016

No comments

  Ssabapoliisi w’eggwanga  Gen kale Kale Kaihura aweereddwa amagezi okussa ekitiibwa mu mateeka g’eggwanga nga bannayuganda abalala.   Kiddiridde Kayihura okuvaayo lwatu n’ategeeza nga poliisi bwetasobola kuwaayo buyinza eri ab’oludda oluvuganya gavumenti.   Bweyabadde ku mukolo gw’okufulkumya abaziyiza emisango abamanyiddwa ng aba Crime Preventers  ababadde […]

Bamalaaya bakaayidde munaabwe

Ali Mivule

January 27th, 2016

No comments

Bamalaaya balumyeeko munaabwe emimwa lwa kusiiga basajja siriimu. Eunice Atuhairwe mutuuze we Nateete wabula nga egigye agikolera ku mabiito agamba banne baamugwiridde mu nyumba yaabwe mwebasula nebatandiika okumukuba nga bamulanga okukkiriza okwebaka n’abasajja nga talina kapiira kyokka nga akimanyi bulungi nti mulwadde. Ono gwetasanze ku […]

Abayizi be Kyambogo batikkirwa leero

Ali Mivule

January 27th, 2016

No comments

Abayizi abasoba mu  6,000 ku ttendekero lye Kyambogo olwaleero bakutikirwa ku matikira ag’omulundi ogwa 12.   Abagenda okutikirwa kuliko aba Entrepreneurship n’abalala.   Amyuka ssenkulu w’ettendendekero lino Prof. Elly Katunguka agamba kubano  2,900 bawala sso nga 3,500 balenzi. Kubano  137 baayitidde mu ddaala erisooka.

Ogw’omukuumi wa Mbabazi gwa leero

Ali Mivule

January 27th, 2016

No comments

Kkooti enkulu wano mu kampala olwaleero esuubirwa okutandika okuwulira omusango poliisi mwesabibwa okuleeta akulira abakuumi b’eyesimbyewo ku bwa pulezidenti Amama Mbabazi. Omusango guno gwakuwulirwa omulamuzi Lydia Mugambe. Ab’oluganda lwa Aine baagala poliisi ereete Aine amaze wiiki eziwerako nga talabikako nga n’abamau balowooza nti yatibwa. Eyawaaba […]

Ekirwadde kya Zika kizinze bulaaya

Ali Mivule

January 26th, 2016

No comments

Gavumenti ya Brazil etegeezezza nga bw’erik abajaasi emitwalo 20 b’etaddewo okulwanyisa ensiri ezireeta ekirwadde ekimanyiddwa nga Zika. Abajaasi bano bakuva nju ku nju nga basomesa abantu ku ngeri y’okulwanyisaamu ekirwadde kino ekikwata abaana nebazaalibwa nga tebatonze bwongo. Kiddiridde gavumenti ezitali zimu okusoberwa ku kirwadde kino […]

Emidaali 700 gigabiddwa

Ali Mivule

January 26th, 2016

No comments

Pulezidenti Museveni agamba nti tewali ayinza kutataaganya ddembe lituukiddwaako Uganda mu myaka 30 egiyise Bino abyogeredde ku mikolo gy’okukuza nga bwegiweze emyaka 30 bukyanga NRA kati NRM etuuka mu ntebe. Pulezidenti Museveni era agambye nti abantu basaanye okukulembera kawefube w’okunyikiza obulimu okulaba nti bafunamu akawera. […]

NRM erabudde bakiwagi

Ali Mivule

January 26th, 2016

No comments

Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM asabye abawagizi be Bukomansimbi obutalonda besimbyewo nga abatalina kibiina mu kulonda okubindabinda.   Justine Kasule Lumumba eyakiikiriddwa minisita wa ICT  Peter Nyombi Tembo okusaba kuno akukoze atongoza ebibiina by’abavubuka ba NRM e Bukomansimbi. Lumumba okuvaayo bwati kiddiride munna NRM eyesimbyewo okukiikirira […]

Lukwago abasekeredde

Ali Mivule

January 26th, 2016

No comments

Loodi meeya wa Kampala Elias Lukwago asekeredde abaali balowooza nti eby’obufuzi bye bikomye. Lukwago agamba abalonzi bakyamulinamu obwesige kubanga tabalyangamu lukwe. Agamba kuluno kadda mu ntebe y’obwa loodi meeya, wakulwanyisa amateeka gonna amabi gavumenti gesibako abantu. Ate mu mawulire amalala eyesimbyewo ku tikiti ya DP […]