Amawulire

Omusibe eyamize ssente ali bubi

Ivan Ssenabulya

October 4th, 2017

No comments

Bya Julius Ocungi   Omusibe mu kkomera lya Lugore mu distrct ye Gulu addusiddwa mu ddwaliro oluvanyuma lwokumira akampapula ka ssente akemitwalo 5. Ono kigwambibwa yamize ssente zino ngagamba nti abasirikale babadde bagenda kumujjako ssente ze. Sengigwa Sendodie owemyaka 32 okusinziira ku Daily Monitor yasoose kuzisiba mu […]

Mathiew Kanyamunyu ddaaki awereddwa okweyimirirwa

Ivan Ssenabulya

October 4th, 2017

No comments

Bya Ruth Anderah Matthew Kanyamunyu, agambibwa okutemula omuntu wali e Lugogo ddaaki awereddwa okweyimirirwa mu kooti enkulu. Ono ayimbuddwa ku kakalu ka kooti ka bukadde 10 ezibadde ezobuliwo era nebamulagira okweyanjulanga mu kooti buli mwezi. Abantu 5 bebamweyimiridde okubadde ba kojja be, na bano basabiddwa […]

Amafuta ga uganda gakyali mu lusuubo.

Ivan Ssenabulya

October 4th, 2017

No comments

Bya samuel ssebuliba. Akakiiko ka Palamenti akakola ku bugaga obw’ensibo kasazeewo okuyita abakwatibwako ku by’amafuta, bajje banyanyole oba kinasoboka okutuusa amafuta obutasuka 2020. Bano okutaama kidiridde okuwayaamu ne minister Peter Lokeris n’ebakizuula nga ebintu nga enguudo, kko n’ebirira ebigenda okuyamba mukusima amafuta tebinatuuka. Kati ssentebe […]

Ekisaakaate ky’abaami kigaddwaawo leero.

Ivan Ssenabulya

October 4th, 2017

No comments

Bya shamim Nateebwa. Ssabawolereza w’obwakabaka, Owek.David Mpanga amakya ga leero aggaddewo omusomo gw’abasajja oguyitibwa ‘’ekiziri’’,ogubadde guyindira ku Bulange wano e mengo. Ono yoomu ku kaweefube w’okuzza obumu mu maka wamu n’okumalawo obutabanguko obususse . Mukwogera Owek. Mpanga asabye abaami okubeera abakakamu eri  bakyala baabwe,kko n’okutuukiriza […]

E kasese Kkolera yakakwata abantu 100.

Ivan Ssenabulya

October 4th, 2017

No comments

E  kasese mu kitundu kye Bwera ewalumbibwa ekirwadde kya kolera agavaayo galaga nga abantu abakakwakwatibwa ekirwade kino bwebaweze 100 okuva ku 70 sabiiti eno weyatandikira. Twogedeko ne Pedson Buthala akulira edwaliro lye Bwera n’agamba nti omuwendo gw’abalwadde buli kadde gulinya. Buthala agamba nti obukwadde buno […]

Banamateeka balumbye sipiika Kadaaga ku by’okugoba ababaka.

Ivan Ssenabulya

October 4th, 2017

No comments

Bya Ritah Kemigisa. Waliwo abasomesa b’amateeka e makerere 22 abaavudeyo okunenya parliament olw’okwesiba ku ky’okukyusa akawaayiro number 102 b. Bano nga bakulembedwamu Professor Christopher Mbaziira  bagamba nti speaker yakola kikyamu okulya ebigambobye n’akiriza omubaka we Igara  West MP Raphael Magyezi okuleeta ekiteeso kino, songa olw’asooka […]

Palamenti egaanidwa okukwata ku nyingo ya 102 b.

Ivan Ssenabulya

October 4th, 2017

No comments

Bya Ruth Anderah.     Waliwo banamateeka aba Muwema and company advocates kko ne  Akampurira and partners  abagenze ewa speaker Rebecca Kadaga nga bamusaba ayimirize okukubanya ebirowoozo ku bago lyeteeka erigenderedwamu okujja ekomo ku myaka gyomukulemebeze we gwanga okutuusa nga kooti ya ssemateeka ekoze ku […]

Abavuganya gavumenti bazize olutuula, ngebbago ku myaka lisomebwa

Ivan Ssenabulya

October 3rd, 2017

No comments

Bya Kyeyune Moses Abavuganya gavumenti mu palamenti nate bazizze olutuula lwa leero nga bwebalaliika, nga bawakanya ekyokugoba banaabwe mungeri gyebagamba nti emenya amateeka. Okusinziira ku akulira oludda oluvuganya gavumenti, Winnie Kiiza basalawo okulaga obumu mungeri eno, nabo okuzira entuula ssatu ezo ezakaligibwa banaabwe, abaali bawakanya […]

Omubaka Kyagulanyi Ssentamu akwatiddwa

Ivan Ssenabulya

October 3rd, 2017

No comments

Bya Damalie Mukhaye Poliisi eriko ababaka abamu ku abo abogobwa mu palamenti betangidde, okuyisa ekivvulu, nga babadde bolkera mu kibuga. Ababaka bano babadde bakyaliddeko, mubaka munaabwe Robert Kyagulanya Ssentamu, owa Kyandodo East mu maka ge e Magere oluvanyuma lwebigambibwa kuba bbomu okubwatukira mu maka ge. […]

Omutabani asse kitaawe esonga ya taka.

Ivan Ssenabulya

October 3rd, 2017

No comments

Bya Abubaker kirunda. Police e Iganga ekutte omusajja wa myaka 30 eyasse kitaawe nga amulanga kugaana ku muwa ku nsimbi zeyatunze mu taka. Akwatidwa ategerekese nga Francis Kasozi  omutuuze we  Bumwaki mu gombolola ye  Namungalwe  Iganga Police egamba nti Kasozi yakubye kitaawe  Peter Ssemwenda  omugo […]