Amawulire
Abaana 11 basobezza ku mukazi kirindi.
Bya Enid Ninsiima. Mu district ye Kasese waliwo abayizi 11 abakwatidwa nga bano kigambibwa nti baliko omukazi owe myaka 26 gy’ebaakase akabozi. Eby’akazuuka biraga nti kubano munaana baana ba ssiniya yakuna era bakola bigezo byabwe eby’akamaiirzo. Akulira okunonyrerza ku buzzi bw’emisango ku poliisi mu munisipaali […]
UNEB etandise okuyigga abaana abaakopye ebibuuzio bya S.4.
Bya Damalie Mukhaye. Ekitongole ekikola ku by’ebibuuzo mu gwanga ekya UNEB nga kikwataganye ne police batandise okunonyereza kubigambibwa nti waliwo abaana abaasomodde ebibuuzo ebikolebwa ku mutendere ogwa S.4. Kinajukirwa nti amakya ga leero olupapula lwa Daily Monitor lukitegedeko nti waliwo empapula 2 okuli olwa chemistry […]
Abaana amakumi 30 bakwatiddwa nga tebasoma bakungula bikajjo
Bya Abubaker Kirunda Mu district ye Jinja agavaayo galaga nga abaana 30 bwebakwatidwa okuva mu gombolola ye Buyengo, nga bano ogubavunanibwa gwakugenda mumasamba gabikajjo okukola kyoka nga kadde kakusoma. Bano abaana bakwatidwa nga bakedde kugenda kutema bikajjo, era nga kino ekikwekweto kikulembedwamu akulira police yeeno […]
Bamukutte lwabubbi
Bya Abubaker Kirunda Police e Buwenge wano mu Jinja ekutte omuvubuka wa myaka 18 nga ono emulanze gwa bubbi. Akwatidwa ategerekese nga Asupus Musoke , omutuuze Buwenge Town Council. Akulira okunonyereza kubuzzi bw’emisango ku police ye Kiira north Henry Magoola agambye nti omuvubuka ono nga […]
Olwaleero mazalibwa ge’zzike Zakayo
Bya Benjamin Jumbe Banna-Butonde bwansi nabagoberera ebyafaayo byebisolo ebyomunsiko olwaleero bakunganidde Entebbe mu kkumiro lyebisolo okuyambako ezike erimanyidwa nga Zakayo okukuza amazallibwa, nga liwezeza emyaka 54. Kinajukirwa nti nga 10th June, 1964 Zakayo yanunilibwa okuva mu bibira bye Semliki National Park e Bundibugyo ngeweza omwaka […]
Abaana abalwadde endya embi beyongera olwenkuba
Bya Shamim Nateebwa E Mulago mu kifo kya Mwana Mugimu omulabirirwa abaana abalwadde endya embi abakulirayo bategeezeza nti buli nkuba lwetinya omuwendo gwabaana abaletebwa gweyingera. Twogedeko ne Dr. Hanifa Namusoke nagamba nti buli nkuba llwetonya endwadde ezekusa kundya embi zeyongera mu baana , kale nga […]
Gwebateebereza obubbi e Kanungu bamusse
Bya Sam Ssebuliba Police e kanungu etendise okunonyereza ku kyakyafiriide okufa kwomusajja owe myaka 35 , nga ono kigambibwa ntyi yattidwa mu kikolw kyakutwalira mateeka mungalo. Twogedeko ne Elli Matte ayogerera police ye kigezi nagamba nti omugenzi yategerekese nga Sande God omurtuuze we Nyarutojo mu […]
Omuwendo gwabavubuka wansi wemyaka 18 gwakweyongera
Bya Sam Ssebuliba Waliwo alipoota efulumiziddwa abekitongole ekya UNICEF ekikola ku byabaana eraze nti wegunakonera omwaka 2030 ng’omuwendo gw’abaana abali wansi we myaka 18 gulinye okutuuka ku bu bukadde 170 , olwo bawere obukadde 750 . Alipoota eno araga nti Africa yetaaga okuteeka ensimbi nyingi […]
Okulonda kwe Kenya tekunajumbirwa.
Bya samuel ssebuliba. Mu gwanga lya Kenya okulonda kwatandise ku saawa 12 ez’okumanyaka , wabula nga nakaano abalonzi bakyaganye okuwera mu bifo ebimu. Kinajukirwa nti kuno kulonda kwa mulundi gwakubiri, oluvanyuma lwa kooti okusazaamu okwaliwo nga 8th august. Kati Muntu waffe Herbert Ziwa aliyo atubuulide […]
Dr Besigye n’abalala 5 kooti ye Rukungiri ebayimbudde.
Bya samuel ssebuliba. E Rukungiri gavaayo galaga nga munna FDC Dr Kiiza Besigye, Patrick Amuriat, Ingird Tulinawe kansala we Rukungiri Innocent Tashobya kko n’abalala basatu bwebayimbuddwa Bano leero bakedde kulabikako mu maaso g’omulamuzi wedaala erisooka Julius Borore n’abasomedde emisanyo esatu okubade okukuma omuliro mu […]