Amawulire

Eyali omubaka omukyala owa Jinja afudde.

Ivan Ssenabulya

January 18th, 2018

No comments

Bya Steven Otage.   Amawulire g’etwalafuna galaga nga eyaliko omubaka omukyala owa Jinja district bwakedde okufa– nga entabwe evudde kukya oxygen kubula mu malwaliro. Omukyala ono afiiride Jinja, nga ab’oluganda bwalwana okunoonya amalwaliro agayinza okubayamba okubawa oxygen. Twogedeko ne muwala w’omugenzi nga ono ye Sylvia […]

Abawangaliira mu bwavu beyongedde mu Uganda

Ivan Ssenabulya

January 17th, 2018

No comments

Bya Samule Ssebuliba Ettundu tundu eryabantu abawangaliira mu bwavu obusukiridde beyongedde nebatuuka ku 21.4% mu mwaka gwa 2016/17 okuva ku 19% nga bwegwali mu 2012/13. Wabula yyo mummabuka ge gwanga obwavu mu banan-Uganda bukendedde okuva ku 43.7% okudda ku 32.5%. Bwabadde afulumya alipoota gyebakungaanya mu […]

Kibuule yegaanye okubba ettaka

Ivan Ssenabulya

January 17th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah Olwaleero minister omubeezi owamazzi Ronald Kibuule yeeganye ebimwogerwako nti yoomu ku ba mukoko mu kubba ettaka e Buikwe. Kibuule olwalero alabiseeko mu kakiiko akatekebwawo okunonyereza ku mivuyo gye ttaka, neyegaana okubaako ky’amanyi ku bigambibwa nti yabba ettaka nokutulugunya abantu be Buikwe, natuuka […]

Basatu Bafiridde mu kabenje

Ivan Ssenabulya

January 17th, 2018

No comments

Waliwo akabenje akagudde mu district ye Kiruhura bus ya companya ya Kasaba, namba UAH-319/T bwegudde abantu 3 nebafiirawo, ate abalala 8 nebaddusibwa mu ddwaliro e Masaka, ngokuwona emagombe banasimbayo kitooke. Richard Bamwine aduumira poliisi yebidduka mu district ye Lyantonde akakasizza akabenje kano n’agamba nti abagenzi […]

Kooti eragidde abayizi abagobwa ku UCU babaliyirire

Ivan Ssenabulya

January 17th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Omulamuzi wa kooti enkulu e Mukono, Margret Mutonyi alagidde ettendekero lya Uganda Christian University okuliyirira abayizi babiri bebagoba mu bukyamu, nokubazza ku ttenedekero basome. Abayizi bamateeka Simon Ssemuwemba ne Yasin Ssentumbwe batwala ettendekero mu kooti mu April wa 2016, bwebabagoba olwokukuma omuliro […]

Kaihura Yegaanye Okuyimbula SOBI

Ivan Ssenabulya

January 17th, 2018

No comments

Bya Kyeyune Moses Ssabapoliisi we gwanga Gen Kale Kayihura asabye abantu babulijjo, okwesammula ebyogerwa nga Paddy Sserunjogi bweyayimbuddwa. Sserunjogi, amanyiddwa nga SOBI yakwatibwa ku Bbalaza, mu kikwekweto ekyawamu. Bwabadde alabiseeko mu kakaiiko ka palamenti akebyokwerinda nesonga zomunda mu gwanga, omubaka we Butambala Muhammad Muwanga Kivumbi […]

Kampala ekyali District

Ivan Ssenabulya

January 17th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah Kooti eya ssemateeka olwaleero eramudde nti ekibuga Kampala kikyatwalibwa nga District. Abalamuzi okubadde Steven Kavuma, Richard Buteera, Solomy Bossa, Cheborion Barishaki ne Paul Mugamba, balamudde obutesalamu ku musango gwa munna FDC, omubaka wa Kampala Nabilah Nagayi Ssempala. Okusinziira ku nyukakyuka ezakolebwa, Kampala […]

Omusajja atemye e miranga -omwana gw’abadde alabirira siwuwe.

Ivan Ssenabulya

January 17th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenubulya. MUKONO: Ssemaka akubidde emiranga ku poliisi  oluvanyuma lw’eyali mukazi okukamutema nti omwana abadde abayombya nti ssi wuwe. Ibrahim Musisi nga mutuuze ku kyalo Butebe yaakabidde amaziga ku poliisi e Mukono oluvanyuma lw’eyali Mukazi we Patricia Birungi okuvayo n’amutegezza nti omwana wabwe Leticia […]

E masaka e nsimbi z’obukuumi President aziweze.

Ivan Ssenabulya

January 17th, 2018

No comments

Bya Getrude Mutyaba. E masaka Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ayimirizza enkola y’okusolooza ensimbi ku bantu saako n’okuteekawo abakuuma ebyalo. Bino bibadde mu bubaka bwe bw’atisse Minister Omubeezi avunanyizibwa ku nsonga z’omunda mu ggwanga Obiga Mario Kania . Minister Kania asinzidde mu lukiiko olw’etabiddwamu abakulembeze […]

Gashumba azeemu navunanibwa

Ivan Ssenabulya

January 16th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah Frank Gashumba ne Muganda we Innocent Kasumba olwaalero bavunaniddwa mu butongole mu kooti ya Buganda Road, oluvanyuma lwakediimo kabawaabi ba gavumenti, okuyimirizibwa omwaka oguweddes. Bazeemu nebabasomera emisango egyobufere, okusangibwa nebiragalalagala mu maaso gomulamuzi James Eremye Mawanda, wabula nebagyegaana. omuwaabi wa gavumenti Nelly […]