Amawulire

Abaserikale babiri battidwa e kawempe.

Ivan Ssenabulya

February 16th, 2018

No comments

Bya Andrew Baagala.   Wano e Kawempe agavaayo galaga nga abaserikale babiri aba bwebatiddwa nemundu zaabwe nezitwalibwa Abattidwa kuliko Mark Habyara  ne  Constable Otim  nga  bano okugya ku mitawaan babade bakola potolo mubudde bw’ekiro. Ayogerera police mu kampala n’emiriraano Luke Owoyesigire agambye nti bano battidwa […]

Abe Kangulumira e Kayunga bagudde ku mulambo

Ivan Ssenabulya

February 15th, 2018

No comments

Bya Eria Lugenda Abatuuze be Kavule mu gombolola ye Kangulumira mu disitulikiti ye Kayunga bakubiddwa enkyukwe bwebagudde ku mulambo gwa mutuuze munabwe nga atemedwatemedwa. Okusinziira ku batuuze, omugenzi Kyeroba Anthony owemyaka 47 asangiddwa mu kitaba ky’omusaayi nga ngomulambo gwasulidwako akagaali ka maanyi ga kifuba akabaddeko […]

Eyafunira akabenje ku mulimu ali mu mbeera mbi

Ivan Ssenabulya

February 15th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Omuvubuuka awanjagidde ebitongole ebirwanirira eddembe lya’bakozi ne ministry yensonga zabakozi okumuddukirira oluvanyuma lwokufunira akabenje ku mulimu. Geofrey Musiitwa owemyaka 21 nga mutuuze ku kyalo Upper Kauga e Mukono agamba yali mukozi mu kampuni ya Biyinzika Poultry International e Ntenjeru wabula ki tractor […]

Bakaleke bamuyise mu kooti

Ivan Ssenabulya

February 15th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah Omuddumizi wa poliisi mu Kampala South, Hajji  Bakaleke Siraje ayitiddwa mu kooti enkulu ewuliriza egye ttaka okwanukula ku isango egyamuguddwako omusubuzi Kagga Moses Bbira nga byekuusa ku nkayana ku ttaka erisangibwa e Nsangi eribalirirwamu obukadde bwa Uganda 51. Okusinziira ku biwandiiko ebimuyita ziyite […]

Gavumenti ya Uganda okukolagana no’bukulembeze bwa South Africa obugya

Ivan Ssenabulya

February 15th, 2018

No comments

Bya Sam Ssebuliba ne Damalie Mukhaye Gavumenti ya kuno esubizza okukolagana nobukulembeze bwe gwanga lya South Africa obugya, oluvanyuma lwokulira kwa Jacob Zuma. Bwabadde ayogerako naffe minister omubeezi owensonga ze bweru Henry Okello Oryem ategezeza nti gavumenti ya Uganda yakuteeka ekitibwa mu kusalawo kwekibiina ekiri […]

Abasomesa mulambike abaana nga balonda amasomero gyebalaga.

Ivan Ssenabulya

February 15th, 2018

No comments

Bya Damali Mukhaye .     Ministry ekola ku by’enjigiriza esabye  abakulu b’amasomero okutandika  okulambika abaana baabwe ku masomero gebalina okusaba , nadala ku mutenedera ogwa P.7 ne S.4. Twogedeko  n’akulira akakiiko akasunsulamu abaana bano mu ministry ekola ku byobulamu Kule Benson n’agamba nti abaana […]

Aba Rotary n’edwaliro lya Nsambya baakujanjaba kookolo ku bwerere.

Ivan Ssenabulya

February 15th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa. Aba Rotary  Club Uganda, wamu n’abakulira eddwaliro lya Nsambya, olwaleero baliko kawefube gwebatandise ow’okujjanjaba, okwekebejja n’okuwa amagezi abantu abalina obulwadde bwa kookolo  ku obwerere. Bano bagamba nti ekizibu kya kookolo mu Uganda, kyongedde okugoya abantu naye nga obuzibu buva kubannansi obutamanya kyakukola […]

Museveni alabudde ababba ensimbi zababundabunda

Ivan Ssenabulya

February 14th, 2018

No comments

Bya Benjamin Jumbe Omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni akungudde eddoboozi eri abo ababba ensimbi zabanoonyi bobubudamu. Presidenti Museveni okulabula bwati abadde ku nnimiro ye eya Kawumu presidential demonstration gyasiibye olwaleero. Kino kidiridde abakulu bekibiina kyamawanga amagatte okwemulugunya ku kubulankana kwensimbi ze mponzi naddala mu […]

Poliisi ekutte omukazi olwokutta bba

Ivan Ssenabulya

February 14th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Poliisi e Mukono eriko omukazi ne mukwano gwe gwegombyemu obwala nga bateberezebwa okuba nga bekobanye n’ebatta omwami. Abakwate ye Jackline Nakku  owemyaka 25 mukyala w’omugenzi ne mukwano atanategerekeka mannya abatuuze ku kyalo Upper Nabuti masekati gekibuga Mukono. Kigambibwa nti banno mu kiro […]

Abatuuze bazudde omulambo ku mwalo

Ivan Ssenabulya

February 14th, 2018

No comments

Bya Sadati Mbogo Abatuuze ku mwalo gwe Busimuzi ku bizinga by’e Bunjakko mu district y’e Mpigi baguddemu ekyekango oluvanyuma lw’okugwa ku mulambo gw’omuvubuka ategerekeseeko erya Mpanga nga gugobgye ku lubalama. Mu kunonyereza okukoleddwa, kizuuliddwa nti omuvubuka yabadde awuga ku mwalo e Golo mu ggombolola y’e […]