Amawulire
Abakosebwa olwa SGR e Mukono bawadde gavumenti emyezi 4 okubaiyirirra
Abatuuze 136 ku kyalo Kigombya mu district ye Mukono abalina ettaka nebibanja, awagenda okuyita, oluguudo lw egwaali yomukka olwa Standard Gauge Railway bawadde gavumenti emyezi 4 okuba nga basasudwa, bwekinagaana baaakuddamu okukozesa ettaka lyabwe. Bano bagamba oluvanyuma lwabakunga okuva mu SGR mu 2016 okulambula ebitundu byabwe, […]
Abavunanwa 11 mu musango gwa Maj Kiggundu babajerezza
Bya Ruth Anderah Ssabawaabi wa gavumenti Jane Frances Abodo aliko abantu 11 bajeeko emisango gyobutujju, abaali bakwatibwa ku butemu obwakolebwa ku Major Muhammad Kiggundu. Bano kuliko Abdulaziz Abdushakur Musoke, Sulaiman Wayaba, Bashir Nyangisho, Abdallah Katata Byansi, Sulait Majid Lukwago, Fikil Yusuf Alqaeda Abasi, Abubaker Katende, […]
Abakazi abatunda amagumba g’ebyenyanja babakutte
Bya Juliet Nalwoga Poliisi e Kabale eriko abakazi 6 begalidde, nga kigambibwa nti babaddenga batunda emmere atenga baliko ebirala byebajitabuddemu. Bano babakutte okuva mu katale ka Kabale central market, nga poliisi egamba nti babasanze nebyenyanja ebisiike nga babisizeeko ebintu ebiralala. Omwogezi wa poliisi mu kitundu […]
Omubaka Fungaroo y’ekubidde enduulu obulamu bwe buli mu matiga
Bya Benjamin Jumbe, Omukubiriza wólukiiko lweggwanga olukulu Rebecca Kadaga alagidde ssabapoliisi okuwa obukuumi omubaka wa Obongi county Kaps Hasan Fungaroo. Kino kidiridde omubaka ono okwekubira enduulu mu palamenti nga agamba nti amaze ebbanga nga alina abantu abamuwondera buli wadda naye nga batambulira mu motoka za […]
Mayambala asabye okutwala omusango gwa Kyagulanyi ogwébyókulonda
Bya Prossy Kisakye, Eyavuganya ku ntebe eyómukulembeze wéggwanga mu kulonda okwakagwa Eng Willy Mayambala, addukidde mu kkooti nga awakanya ekyókugyayo musango gwe byokulonda Senkagale wa NUP Robert Kyagulanyi mwabadde awakanyiza obuwanguzi bwa Museveni, kati ayagala omusango guno bagumuwe. Mu bbaluwa gyawandiikidde kkooti ensukulumu, Mayambala, awakanyiza […]
Gavt eleese enkola ya E-posta
Bya Moses Ndaye, Gavumenti etongoza enkola eyokuwereza obubak okuyita ku mutimbagano oba kiyite e-Postal service ngómu mu kawefube owokutukiza enkola ya posita. Bwabadde atongoza enkola eno mu kampala, minisita avunanyizibwa ku byamawulire, Judith Nabakooba, agambye nti enkola eno egenda kusikiriza bangi okwefunira posita ekimu ku […]
Abasuubuzi ba KACITA bawakanyiza omusolo gwa Textiles Policy
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina omwegatira abasuubuzi bómu Kampala ki ekya KACITA kyekubidde enduulu eri minisitule eyébyensimbi, eye byobusuubuzi ne yabamusiga nsimbi nga bawakanya omusolo omugya okuyita mu tteeka lya Textiles Policy gavumenti gwe yababereka ogwokusoloozo omusolo gwa doola 5 ku buli kilo eye byamaguzi ebikozesebwa […]
Ettemu Entebbe: Owa Mobile Money Bamukubye Amasasi
Bya Juliet Nalwoga Poliisi Entebbe etandise okunonyereza ku butemu obukoleddwa ku mukazi owemyaka 30 Nambi Bogiya, omukozi ku Mobile Money e Nalugala. Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwano Luke Owoyesigyire agambye nti obutemu buno bwabadde akawungeezi akayise, kinnya na mpindi ne nnyumba wabadde apangisa […]
Bobi ataddeyo obujulizi obulala okujjayo omusango
Bya Ruth Anderah Munnamateeka okuva mu kampuni ya Lukwago and Co Advocate Ukasha Ssekajja akoze kirayiro, okuwagira okusaba, kwakulembera ekibiina NUP Robert Kyagulanyi Sentamu okujjayo omusango, mwabadde awakanyiriza obuwanguzi bwa Yoweri Museveni. Lukwago and Co Advocates yeemu ku kampuni zebaali bapangisa, okuwoza omusango gwa Kyagulanyi. […]
Ekiwamba Bantu: Kadaga alagidde Jeje Odongo okuleeta
Bya Prosy Kisakye Minisita owensonga zomunda mu gwanga Jeje Odongo asubirwa olwaleero, okulaga palamenti olukalala lwabantu abazze bawambibwa nokubuzibwawo, okuviira ddala mu biseera byokulomnda. Omkubiriza w palamenti Rebecca Kadaga olunnaku lwe ggulo yalagidde minisita okufulumya olukalaa luno, nategeeza nbti obutakikola kitadde ku bunkenke abantu, naddala […]