Amawulire

Mukyakala wa Col Ndahura adukidde mu kooti.

Ivan Ssenabulya

June 25th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah. Mukyala w’eyali akulira ekitongole ky’abambega ekya crime intelligence mu police nga ono oye Col Atwooki Ndahura adukidde mu kooti enkulu nga ayaggala baawe atwalibwe mu kooti oba ayimbulwe  mu bwangu. Sarah Ndahura  nga ayita mu banamateekabe aba Ochienge Associated Advocates , batutte […]

Laddu ekubye omuvubi nafa

Ivan Ssenabulya

June 25th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya   Entiisa ebiikidde abatuuze ku kyalo Kacanga e Sese mu district ye Kalangala, omuvubi bwakubiddwa laddu nafiraawo. Omugenzi ye Mukasa Wilson Nsubuga, ngabadde ne banne 2 nga babadde bagenze kuvuba, laddu gyevudde nebakuba omu nakalirawo. Muyiba Isma omutuuze yaliko byatubuliidde ku kufa […]

Owa Boda Boda Bamusse pikipiki nebajitwala

Ivan Ssenabulya

June 25th, 2018

No comments

Bya Malikh Fahad Poliisi e Kyotera etandise okunonyereza kungeri omugoba wa pikipiki gyatiddwamu abazigu ne pikipiki nebajimutwalako. Omugenzi ye Kuraish Kawooya omutuuze mu Kinakole zone mu Kabuga ke Beteremu mu district ye Kyotera. Kigambibwa nti omugenzi waliwo abamupangisizza okuva e Kamwanyi okubatwala mu gombolola ye […]

Aba FDC bagala okuwandiisa butto okwabakyala

Ivan Ssenabulya

June 25th, 2018

No comments

Bya Sam Ssebuliba Ekiwayi kyabakyala mu kibiina kya Forum for Democratic Change kyambalidde akakiiko kebyokulonda olwobutaddamu butto kuwandiisa abanavuganya ku bukiiko bwabakyala. Mu ntekateeka empya akakiiko kebyokulonda kalangiridde nti okunonya obululu okwobukiiko kwabakyala kwekujja okubaawo, okutandika nga 29th June okutukira ddala nga 2nd July ate […]

Omubaka Nambooze akukulumidde gavumenti

Ivan Ssenabulya

June 25th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Omubaka wa munisipali ye Mukono Betty Nambooze asabye gavumenti okutusiza bann-Uganda obujanjabi nobukuumi. Agambye nti ensimbi nnyingi ezisasanyizibwa okujanjaba abantu ebweru, songa nebyobujanjabi kuno kisoboka okulongooka. Bino abyogeredde ku ddwaliro e Kiruddu gyakumirwa nokujanjabibwa, bwabadde ayogerako ne banamwulire. Ono era kukulumidde abakungu […]

Omusajja atuze omwana nga alanga nyina kumukyawa.

Ivan Ssenabulya

June 22nd, 2018

No comments

Bya Abubaker Kirunda. Polisi  e Kaliro ekutte omusajja wa myaka 28 nga ono alangibwa gwakutta mwana mujjananyina. Attidwa ategerekese nga Yaquob Kaisambira omutuuze we   Namaremba  mu gombolola ye Namugongo Omusajja ono kigambibwa nti  yabadde egenze ewa mukyalawe gyeyanobera nga ayagala mukyalawe akomewo, kyoka bweyalabye awalidde […]

Ebintu ebitwalibwa mu China byakumala kulongosebwamu.

Ivan Ssenabulya

June 22nd, 2018

No comments

Ndaye Moses. Gavumenti  etegeezeza nga bwetadewo enkola ezigenda okuyitwamu okulongoosa enkolagana mu by’enfuna wakati wa uganda ne china. Ssabaminister we gwanga Dr. Ruhakana  Rugunda agambye nti muntekateeka z’ebalina, tebagenda kuddamu kukiriza bintu ebitali ku mutindo okutwalibwa e bunayira, kale nga ebintu ebilongoseemu byokka byebigenda okutwalibwanga […]

Eyaliko omubaka kate asule mu komera lwakuginga biwandiiko.

Ivan Ssenabulya

June 22nd, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah. Eyaliko omubaka wa palamenti ow’eBundibugyo Harrient Ntabazi  olwaleero asiimbiddwa mu kooti ya Buganda Road, navunanibwa emisango esatu egy’ekusa kukuginga ebiwandiiko. Obujulizi obuleeteddwa oludda oluwabi nga lukulembedwamu kalisoliiso Wilberfoce Mutebule  bulaga nti  wakati wa December 2015 ne  October 2016, Ntabazi  mubugenderevu yakozesa ebiwandiiko […]

Aba NRM bawakanyizza ekiwandiiko ekisaba emirimu

Ivan Ssenabulya

June 22nd, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Abekibiina kya NRM bawakanyizza ekiwandiiko ekibadde kiyitingana, ku mitimbagano nga kiraga nga ssbawandiisi  Justine Kasule Lumumba, bweyalanze emirimu egiri mu 500 mu mawanga ge bweru. Mu kiwandiiko kino emirimu bajiranze mu mawanga nga Nigeria, South Africa, Canada, Austria namalala. Wabula okusinziira ku […]

Owa Air Time bamutemudde e Gomba

Ivan Ssenabulya

June 22nd, 2018

No comments

Bya Sadat Mbogo Abatuuze ku kyalo Bugoye mu Gombe town council bakedde kugwa ku mulambo gwOmuvubuka eyattiddwa mu ntiisa nga gugangalamye mu kitaba ky’omusaayi. Gusangiddwa mu kitoogo ku mabbali g’ekkubo ng’ateberezebwa okubeera ng’abadde atambuza airtime mu district y’e Butambala kubanga bu airtime busangiddwa nga busaasanye […]