Amawulire

Abali mu East Africa bagobwe

Ali Mivule

December 1st, 2014

No comments

Ab’ekibiina kya FDC bagaala ababaka ba Uganda bonna abali mu palamenti ya East Africa bagobwe Kino kiddiridde okugobwa kwa sipiika Margret Zziwa n’asikizibwa Chris Opoka okumala ennaku 21 zebagenda okumala nga bamubulirizaako Omwogezi w’ekibiina kya FDC John Kikonyogo agamba nti ababaka bano baakusigala nga battattana […]

Aba NRM bakyabanjibwa

Ali Mivule

December 1st, 2014

No comments

Nga wasigaddeyo mbale ttabamiruka wa NRM atuuke, ekibiina kino tekinnasasula bbanja lya bukadde 188 ezibabanjibwa abe Namboole. Omwezo oguwedde, akakiiko ka palamenti akakola ku bitongole bya gavumenti kalagira NRM okusasula abe Namboole olw’olutuula lwebaalina mu mwaka 2010. Amyuka omuwanika wa NRM, Singh Katongole agamba nti […]

ogwa Godi gumaze okuwulirwa

Ali Mivule

December 1st, 2014

No comments

Okuwulira okujulira kw’eyali omubaka wa Municipaali ye Arua Akbar Godi ku kibonerezo ky’okutta Mukaziwe kuwedde nga ensalawo ya Kkooti ensukulumu kwakuweebwa gyebujja.   Munnamateeka wa Godi  Suzan Wasabula mu kiwandiiko ky’awadde kkooti ategezezza nga kkooti ejulirwamu bweteetegereza  bulunji kujulira kwa Muntu we n’okuddamu okutaganjula obujulizi […]

Abalya enguzi n’abagirya bubakeredde

Ali Mivule

December 1st, 2014

No comments

Olutalo ku baserikale ba poliisi abokunguudo abalya enguzi lunyinyitidde nga kati waliwo 22 abakwatiddwa .   Wabula ekiwendo kino tekitaliza nabajigaba nga era waliwo n’abagoba ba baasi 2 abakwatiddwa nga bagaba ekyojja mumiro era kati batemeza mabega wamitayimbwa.   Akulira poliisi y’ebidduka  Steven Kasiima ategezezza […]

Lunaku lwa siriimu- buvunanyizibwa bwo okumutaayiza

Ali Mivule

December 1st, 2014

No comments

Nga Uganda yegasse ku nsi yonna mu kukuza olunaku lwa siriimu , e Kamuli miranga oluvanyuma lw’abantu 2 ab’enjawulo  okwetta lwakukitegeera nti balina siriimu. Omu mukyaala bba gweyasuula mu  ddwaliro kwekusalawo okwetta oluvanyuma lw’okwekyawa. Omulala musajja eyasigula mukyaala wamunne wabula avudde mu mbeera ne yetta […]

Uganda eweereddwa ssente z’okulwanyisa Ebirwadde bya Ebola ne Marburg

Ali Mivule

November 28th, 2014

No comments

Ekibiina ky’amawanga amagatte kisuubizza Uganda obuwumbi 18 ez’okulwanyisa ebirwadde okuli Ebola ne Marburg. Kino kiddiridde endagaano etuukiddwako wakati wa Uganda n’ebitongole by’ekibiina kino ey’okuyamba eggwanga wakati wa 2016-2020. Ssabaminisita w’eggwanga Dr Ruhakana Rugunda y’akiikiridde Uganda sso nga Ahunna Eziakonwa-Onochie  yeyakiikiridde ekibiina ky’amawanga amagatte. Dr Rugunda […]

E Lwengo abayo enkuba ebalese bafumbya miyagi

Ali Mivule

November 28th, 2014

No comments

E Lwengo amaka agasoba mu 17 gali ku ttaka oluvanyuma lwa namutikkwa w’enkuba afudembye mu bitundu bino . Enkuba eno ebaddemu ne kibuyaga ow’amanyi n’omuzira esaanyizzaawo n’ensuku eziwerako nga kw’ogasse emisiri gya muwogo, ebijanjalo n’ebirime ebirala . Ekyaalo kya  Bugaga Zone mu tawuni kanso ye […]

Omusawo eyakuba omwana empiso ya siriimu ayimbuddwa

Ali Mivule

November 28th, 2014

No comments

  omusawo eyasibwa emyaka 3 olw’okukuba omwana omuto empiso gy’amaze okwekuba nga ate alina  siriimu ayimbuddwa. Rosemary Namubiru nga aweza emyaka  64 y’asambira emabega nga ejjanzi oluvanyuma lw’omulamuzi wa kkooti enkulu Rugadia Atwoki okulagira ayimbulye. Kkooti ya Buganda Road y’aggalira Namubiru emyaka 3 oluvanyuma lw’okumusingisa […]

ZZiwa agaanye okuva mu ofiisi

Ali Mivule

November 27th, 2014

No comments

Sipiika wa palamenti ya East Africa Margaret Zziwa agamba nti abamugobye bamala biseera kuba tajja kuva mu ofiisi Ng’ayogerako eri bannamawulire, Zziwa agambye nti amateeka agagobererwa okugoba sipiika tegagobereddwa kale nga byonna ebyakoleddwa bimenya mateeka Zziwa agamba nti tewali ngeri Lukiiko lw’atamanyiiko gyeruyinza kutuula nerumugoba. […]

Abe Kasokoso bawangudde olutalo olusoose

Ali Mivule

November 27th, 2014

No comments

Kkooti enkulu egobye okusaba okwakolebwa nga kusaba nti abatuuze be Kasokoso bassibweeko ekiragiro ekibagaana okutunda ku ttaka lyaabwe okutuusa ng’entalo ku ttaka lino ziweddewo Okusaba kuno kugobeddwa omuwandiisi wa kkooti enkulu Michael Otto ng’agamba nti abatuuze abali ku ttaka lino balibaddeko okuva mu gye 60 […]